Amawulire

ABAKULEMBEZE ba Kampala batongozza okukola oluguudo lwa Kinawattaka

ABAKULEMBEZE ba Kampala batongozza okukola oluguudo lwa Kinawattaka Road olubadde luludde nga lutawaanya abalukozesa olw’embeera embi mwerubadde Minisita wa Kampala Hajjat Minsa Kabanda n’asaba abatuuze abalulinaanye okulonkoma abo bonna abanenyigira mu kubulankanya ebikozesebwa

Eng.Balimwezo ng'atongoza okuzimba oluguudo
By: Huzaima Kaweesa, Journalist @New Vision

ABAKULEMBEZE ba Kampala batongozza okukola oluguudo lwa Kinawattaka Road olubadde luludde nga lutawaanya abalukozesa olw’embeera embi mwerubadde Minisita wa Kampala Hajjat Minsa Kabanda n’asaba abatuuze abalulinaanye okulonkoma abo bonna abanenyigira mu kubulankanya ebikozesebwa...

Okutongoza okukola oluguudo

Okutongoza okukola oluguudo

Okutongoza oluguudo luno kwetabiddwako abakulembeze ba Kampala ab’enjawulo okubadde Minisita wa Kampala Hajat Minsa Kabanda, Loodi meeya Eng. Ronald Balimwezo n’akulira KCCA Hajat Sharifah Buzeki.

Okutongoza okukola oluguudo

Okutongoza okukola oluguudo

Balimwezo ategezezza nga oluguudo luno bweruli olukulu ennyo kubanga luyitako nnyo emmotoka ez’ebyamaguzi kyokka n’ategeeza nga bwebatagenda kuttira muntu yenna ku liiso analuzannyirako nga luwedde ku nkomerero y’omwaka guno.

Okutongoza okukola oluguudo

Okutongoza okukola oluguudo

Akulira KCCA Hajat Sharifah Buzeki asabye abantu okukozesa obulungi oluguudo luno bwerunaaba luwedde kubanga sente ezirugendako ziba zaabwe eziva mu kuwa omusolo.

Ategezezza nga bwebagenda okulukola nga lwa mulembe okwewala amataba agabadde gatawanya abantu mu kitundu kino.

Tags: