OLUMALA okusimba akatunda tandikirawo okwetegekera okuzimba ekitandaalo kuba akatunda tolina kukakkiriza kulandira wansi kuba wano tekagenda kubala.
Jjukira nti, ku mwezi gumun’ekitundu katandika okuleeta ekimuli nga kitegeeza nti, ku myezi ebiri olina okuzimba ekitandaalo akatunda kaffe kwe kagenda okutambulira nga bwe kasuula ebimuli n’okubala.
Mu kusimba ekitandaalo, enkondo zibeera mu ffuuti 10 ku 10 nga kitegeeza nti, weetaaga enkondo 450 mu yiika era fuba okufuna enkondo engumu ezitagenda kusuulibwa kibuyaga kuba singa kanaagwa nga kamaze okubala kigenda kukukuba.
Ekikondo kirina kuba kya ffuuti mwenda ng’ebbiri za kinnya olwo ekitandaalo ne kisigala ku ffuuti musanvu. Kikulu okubeera nga kiwanvu oyanguyirwe okufuuyira,
okukuba ekikoola n’okunoga.
Enkondo zonna eziri ebweru zisseeko emiti egiwanirira. Oluvannyuma ossaako waya ezigenda okuwanirira akatimba nga weetaaga enkata nnya nga buli emu egula 135,000/-. Olina kukozesa katimba ka mpuuta obukozeeko nga kano kagula 65,000/- nga mu yiikaweetaaga obutimba 20.
Ku myezi esatu ossaako ekigimusa omulundi ogw’okubiri nga wano otunuulira entambula yaako n’obugimu, embala yaako. Bwe kabeera nga kagimu bulungi, NPK tabulamu CAN. Singa kasana otabulamu ka UREA okwongeza ku Nitrogen ate mu nkuba tossaamu UREA kuba egenda kwongeza obunnyogovu ekigenda okuvaako ennimi okwesiba.
Wabula ku luno kkiro egenda ku bikolo bisatu.Wano, okabalira ekirime olwo n’oyiwa ku ngulu singa enkuba ebeera etonnya kirungi kyokka singa gubeera musana olina okufukako amazzi olwo okibikkeko enkeera.
Mu kiseera kino otandika okukendeeza ebikoola ng’otandika n’ebiva wansi okutuuka mu maviivi ate ebiva ku maviivi okutuuka mu kifuba obirekako.
Ekikoola ekivaako; ekikaddiye, ekyengedde, ekitaliiko kimuli oba katunda. Ekikoola ekirikoguakatunda akato oba ekimuli ekiggyibwako kuba kye kiriisa akatunda.
Kino kiyamba akatunda okufuna ekitangaala olwo ekikolo kisobole okukola emmere, okuziyiza ebiwuka okwekweka mu katunda okusobozesa eddagala okutuuka ku kirime ate n’okutangira obutunda okusigala waggulu buliibwe ebinyonyi ate mu kiseera ky’enkuba bikwata amazzi ne bitandika okuvunda olwo n’okubibwa ekirwadde kya Bright ate nga bigenda kulya ebiriisa olwo ennimi ezirina okutambula ofune ebibala zireme kufuna mmere.
Okufuuyira kulina okugenda mu maaso ekiseera kyonna nga wano olina okufuuyira okutandikira kukikolo ne wansi, ekikolo kyonna ebikoola, obutunda n’ebimuli okukakasa nga tewali muwaatwa gwa bulwadde gw’oleseewo. Bwe tubeera tutandise okukungula, tolina kufuuyira nga tugenda kunoga. Olina okusooka kunoga n’olyoka ofuuyira ate bw’omala okufuuyira olina okuyisaawo ennaku mwenda okuddamu okunoga okwewala okulwaza abantu abalya obutunda bwo okukosebwa eddagala