POLIISI ekutte abantu basatu abagambibwa okuba mu lukwe lw'okubba essimu y'omuwala eyali agenze mu kivvulu kya King Saha e Kololo.
Poliisi yakoze ekikwekweto n'ekwata Abdul Lubwama amanyiddwa nga Mafia eyakkiriza okubba essimu eno n'agiguza Joseph Ssentongo.
Poliisi yasobodde okugenda e Nateete Central A n'ekwata Ssentongo era n'ezuula essimu y'omuwala ono n'ebigenderako ebirala.
Mu kusooka, kigambibwa nti Ssentongo essimu yagiwa Kassim Serunjogi ku Kalungi Mall agambibwa okugiggyamu lock.
Amyuka omwogezi wa poliisi mu Kampala, Luke Owoyesigyire, akakasizza okukwatibwa kw'abantu bano era nga bakyayigga n'abalala.