Amawulire

Eyeeyita 'Omunyarwanda wa Bobi' eyasinziira ku 'Tiktok' n'ategeeza nga minisita Balaam bwe yamukozesa mu nsonga z'omukwano agguddwako emisango 3!

Bano okuli eyeeyita omunyarwanda wa Bobi kigambibwa yakozesa omukutu gwa tiktok ne bategeeza nga minisita bwe yamukozesa mu nsonga z’omukwano nga kino kiba kyonoona ekitiibwa kye.

Eyeeyita 'Omunyarwanda wa Bobi' eyasinziira ku 'Tiktok' n'ategeeza nga minisita Balaam bwe yamukozesa mu nsonga z'omukwano agguddwako emisango 3!
By: Harriet Nakalema, Journalist @New Vision

ABAGAMBIBWA okusaasaanya amawulire amakyamu ku minisita Balaam Barugahare kkooti ebagguddeko emisango.

Bano okuli eyeeyita omunyarwanda wa Bobi kigambibwa yakozesa omukutu gwa tiktok ne bategeeza nga minisita bwe yamukozesa mu nsonga z’omukwano nga kino kiba kyonoona ekitiibwa kye.

Mayega Mu Saati Erimu Ebimuli Ne Kakaire Ataddeko masiki Mu Kaguli Ka Kkooti.

Mayega Mu Saati Erimu Ebimuli Ne Kakaire Ataddeko masiki Mu Kaguli Ka Kkooti.

Ronald Mayega 33 omutuuze w’e Nansana ku Masitowa mu disitulikiti y’e Wakiso y’akwatiddwa ne Swaibu Kakaire 28 omutuuze w’e Kyengera mu disitulikiti y’e Wakiso be bagguddwako emisango esatu ku kkooti ya Buganda Road mu maaso g'omulamuzi Winnie Nankya Jatiko.

Omusango ogusooka kigambibwa nti bano n’abalala abatannaba kukwatibwa mu mwezi gwa July 2026 mu bitundu by’eggwanga eby’enjawulo okuli Kampala ne Wakiso nga b’akozesa omukutu gwa tiktok mu mannya ga "@one.one.ug.media" ne basaasaanya amawulire amakyamu nti minisita Balaam Barugahare yakozesa Ronald Mayega mu nsonga z’omukwano ekitaali kituufu.

Emisango emirala kigambibwa nti bano baddukanya omukutu gwa tiktok nga tebalina biwandiiko bibakkiriza kuguddukanya okuva mu kitongole ky’ebyempuliziganya ki UCC ekivunaanyizibwa ku kulondoola ebigenda ku mpewo.

Wamu n’okwekobaana okuzza omusango nga basaasaanya amawulire amakyamu ekikontana n’amateeka g’eggwanga.

Bano bwe babuuziddwa oba nga ddala kituufu baabikola Mayega n’alaajanira kkooti nga kw’otadde n’okwegaana nti bino byonna eby’okukkiriza emisango baasooka kumutulugunya era nga n’essaawa ya kaakati tasobola kutambula nga talina amuwanirira.

Omuwabi wa gavumenti mu musango guno Grace Amy yategeezezza kkooti nti okunoonyereza kukyagenda mu maaso n'asaba obudde bongere okumanya ebisingawo mu musango guno.

Wano we baasabidde kkooti ku lutuula oluddako ekkirize okuwuliriza okusaba kw’okweyimirira kwabwe.

Omulamuzi bano yabasindise e Luzira okutuusa nga September 28 omulamuzi Ritah Neumbe Kidasa alina okubeera mu musango gwabwe w’anaabererawo

Tags:
Amawulire
Tiktok
Minisita Balaam
Omunyarwanda
Kweyita
Munyarwanda