Amawulire

Omukazi akwatiddwa ku by'okusobya ku mulenzi asoma atanneetuuka

Omukyala omusuubuzi ow'emyaka 30 akwatiddwa poliisi y'e Rukungiri ku bigambibwa nti asobezza ku mwana omulenzi ow'emyaka 15.

Omukazi akwatiddwa ku by'okusobya ku mulenzi asoma atanneetuuka
By: Godfrey Kigobero, Journalist @New Vision

Omukyala omusuubuzi ow'emyaka 30 akwatiddwa poliisi y'e Rukungiri ku bigambibwa nti asobezza ku mwana omulenzi ow'emyaka 15.

Caroline Akankwasa 30, omusuubuzi era nga mutuuze w'e Rwabuteneka cell mu Kagashe waadi mu Eastern diviizoni mu Rukungiri, y'akwatiddwa olw'ebigambibwa nti yasobezza ku muyizi wa ssiniya nti oluvannyuma n'amuwa Ssente obutayogera.

Omwogezi wa poliisi e Kigezi, Nelson Tumushime, agambye nti yamuyise agende ewuwe nti kwe kumusikiriza n'amuyingiza mu kikolwa ekyo kyokka omwana ensonga n'aziroopa mu boobuyinza.  Agasseeko n’agamba nti okubuuliriza kugenda mu maaso.

Tags:
Amawulire
Mukazi
Mwana
RUkungiri
Kukwata