Amawulire

Maama n'omwana we bagudde mu mipiira gya loole n'ebanyiga ne bafiirawo!

Bibadde Walugogo Ntinda Hotel Junction, ku luguudo oluva e Jinja okudda e Iganga, mmotoka loole ekika kya Tata nnamba UBD 671Y /UBD 672Y ebadde yeetisse ebikajjo, bw'erinnye abasaabaze ababadde batambulira ku pikipiki nnamba UGE  889 F Haojue ne bafiirawo.

Maama n'omwana we bagudde mu mipiira gya loole n'ebanyiga ne bafiirawo!
By: Godfrey Kigobero, Journalist @New Vision

Wabaddewo ekikangabwa, maama n'omwana we, ababadde batambulira ku bodaboda bwe bagudde mu mipiira gya loole bombi n'ebattirawo.

Bibadde Walugogo Ntinda Hotel Junction, ku luguudo oluva e Jinja okudda e Iganga, mmotoka loole ekika kya Tata nnamba UBD 671Y /UBD 672Y ebadde yeetisse ebikajjo, bw'erinnye abasaabaze ababadde batambulira ku pikipiki nnamba UGE  889 F Haojue ne bafiirawo.

Bonna babadde bava ku ludda lumu okwolekera Jinja kyokka ng'owa bbooda avugira abeebigere we batambulira ng'agezaako okweyunga mu luguudo kwe kutagala n'agwa mu loole.

Omwogezi wa poliisi mu Busoga East, Micheal Kasadha, agambye nti afudde ye Halima Babirye 25 n'omwana we Rida Bakulimya 2.

Agasseeko nti ddereeva wa loole n'omuvuzi wa pikipiki bombi babuzeewo era ng'ebidduka bikuumirwa ku poliisi e Iganga ng'okubuuliriza kugenda mu maaso.

Tags:
Amawulire
Kunyiga
Kugwa
Kufa