Amawulire

Omukama Oyo aterekeddwa mu masiro e Kalambi : Amagye ne poliisi biyitiddwa!

OMUKAMA Oyo Rukidi IV aterekeddwa mu masiro g'Abakama b'e Tooro e Karambi olw'eggulo lwa leero.

Omukama Oyo aterekeddwa mu masiro e Kalambi : Amagye ne poliisi biyitiddwa!
By: Dickson Kulumba, Journalist @New Vision

OMUKAMA Oyo Rukidi IV aterekeddwa mu masiro g'Abakama b'e Tooro e Karambi olw'eggulo lwa leero.

Omukama omuggya ateereddwako

Omukama omuggya ateereddwako

Wadde kwabadde kwakubeera kwa ssaawa 8:00 ez'emisana ng'obuwangwa bw'Abatooro bwe bugamba  kukoleddwa ku ssaawa 11:30 n'ekitundu ez'olweggulo.

Mmotoka za bakuumaddembe ezazze obukubirire mu kuziika

Mmotoka za bakuumaddembe ezazze obukubirire mu kuziika

Ensonga z'okulwawo okuziika zeetolooledde ku nnyina Namasole Best Kemigisa akalambidde okutuuka ku ntaana y'Omwana we okuziika ate abamanyi obuwangwa bwa Tooro bagamba nti abakazi tebagenda ku ntaana y'Omukama.

Abantu abawerekedde omukama okumuziika e Karambi

Abantu abawerekedde omukama okumuziika e Karambi

Kigambibwa nti yatudde mu mmotoka ebaddemu omubiri gwa Oyo ng'agamba nti balina okutereeza nsonga ze oba si kyo omubiri gwe tebagutwala.

Oluvannyuma abakulu mu gavumenti boogedde naye emmotoka ye neesimbula n’egenda ku ntaana.

Mmotoka ya maama Best Kemigisa bw'ebadde egaaniddwa okuyingira gye babadde bagenda okutereka Omukama

Mmotoka ya maama Best Kemigisa bw'ebadde egaaniddwa okuyingira gye babadde bagenda okutereka Omukama

Tags:
Omukama Oyo
Magye
Poliisi
Kuterekebwa
Kuyitibwa
Masiro