Amawulire

ABATAKA abakulu b'ebika mu Buganda bakyadde mu Lubiri lw'Omukama we Tooro okubakubagiza a

ABATAKA abakulu b'ebika mu Buganda bakyadde mu Lubiri lw'Omukama we Tooro okukubagiza abaayo olw'okufiirwa Omukama Oyo Nyimba Kabamba Iguru Rukidi IV.

Omujwera Musuuga Kamurasi (Ku kkono) ng'ayogera eri Abataka ba Buganda
By: Dickson Kulumba, Journalist @New Vision

ABATAKA abakulu b'ebika mu Buganda bakyadde mu Lubiri lw'Omukama we Tooro okukubagiza abaayo olw'okufiirwa Omukama Oyo Nyimba Kabamba Iguru Rukidi IV.

Abataka bano bakulembeddwamu Omukubiriza w'Olukiiko lwabwe Omutaka Namwama Augustine Kizito Mutumba atuusizza obubaka bwa banne eri akulira Olulyo Olulangira e Tooro, Omusuuga Charles Kayondo Kamurasi abaanirizza.

Ente enjeru egenda okukola emikolo gw'okuyingiza Omukama mu Lubiri e Karuziika

Ente enjeru egenda okukola emikolo gw'okuyingiza Omukama mu Lubiri e Karuziika

Namwama agambye nti okujja mu Lubiri luno kigoberedde eno ye Buganda eramula nti abakulu b'ebika tebaziika kyokka okuziika bwekuggwa, bakola gw'okukubagiza bwatyo n'asasira abantu be Tooro n'olulyo olulangira lwonna olw'okuviibwako Omukama Oyo abadde akyali omuto.

Omutaka Namwama agambye nti mu lugendo luno beetise ente enjeru ebayambeko mu mikolo gy'okutuuza Omukama omuggya era n'asaba Omusuuga okwongera okuwa obukulembeze obunavunusa Obukama embeera y'okusomoozebwa gyebalimu okufuna Omukama omuggya.

Abataka nga bwebaabadde

Abataka nga bwebaabadde

Mu kwogera eri Abataka, Omusuuga Kamurasi ategeezezza ng'Obukama bwe bugenda okufuna n'Okutuuza Omukama mu mbeera yonna era neyeebaza Abataka olw'okuleeta ente eno enjeru gyagambye nti yeegenda okukozesebwa  mu mukolo gw'okuyingiza Omukama omuggya mu Lubiri.

Omusuuga Kamurasi alambuza Abataka ebifo eby'enjawulo mu Lubiri luno olw'e Karuziika n'abasaba okukomawo ekiseera ky'okutikkira Omukama omuggya nga kituuse.

Musuuga Charles Kamurasi ng'ayogera eri Abataka okuva e Buganda nga September 13,2026 mu Lubiri e Karuziika, Tooro

Musuuga Charles Kamurasi ng'ayogera eri Abataka okuva e Buganda nga September 13,2026 mu Lubiri e Karuziika, Tooro

Omukama Oyo Kabamba Iguru Rukidi IV yaterekeddwa ku lwomukaaga mu Masiro g'Abakama be Tooro e Karambi oluvanyuma lw'okuva mu bulamu bwensi nga August 27,2026 mu ddwaliro e Dallas mu America.

Mu kiseera kino Obukama bwe Tooro buli mu keeterekerero k'okutuuza Omukama anabeera owe 14 mu byafaayo byaabwe.

Musuuga Kamurasi (mu lugoye olumyufu) ng'ayaniriza Omutaka Namwama Augustine Kizito Mutumba

Musuuga Kamurasi (mu lugoye olumyufu) ng'ayaniriza Omutaka Namwama Augustine Kizito Mutumba

Omutaka Namwama atambudde n'Abataka okuli Athanasio Kasirye Mbugeramula Kyadondo ow'envuma, Ttendo Namuyimba Muteesasira ow'engo, Samson Nabbimba Nakigoye ow'ekinyomo, Sheba Kakande Kibirige Kasujja Kyesimba ow'engeye, Eria    Buzaabo Lwasi Lwomwa ow'endiga, Muwanga Luwonko ow'ekiwere ate ne Erukana Lukanga Nnamuguzi ow'empologoma

Tags: