Amawulire

Katikkiro eyawummula Mulwanyamuli Ssemwogerere yennyamidde olw'abantu abetundako ettaka

EYALIKO katikkiro wa Buganda,Mulwanya Muli Ssemwogerere yennyamidde olw’abantu abagufudde omuze okwetundako ettaka ky’agamba kikyamu ddala.    

Mulwannyammuli ne banne nga batema evvuunike
By: Denis Kizito, Journalist @New Vision

EYALIKO katikkiro wa Buganda,Mulwanya Muli Ssemwogerere yennyamidde olw’abantu abagufudde omuze okwetundako ettaka ky’agamba kikyamu ddala.

Ono ategeezezza nti ensangi zino mu kifo ky’abantu okukozesa ettaka lyebalina okukolerako ebintu by’okwekulakulanya ate badda mu kulitunda bw’atyo n’asaba embeera eno okugikomya.

Mulwannyammuli ng'ali ku mukolo

Mulwannyammuli ng'ali ku mukolo

Okwogera bino yabadde Katende eb’ekika ky’Olugave kwebaasondedde ssente z’okuzimba ekitebe kyabwe nga kyawumenta ssente ezisoba mu kawumbi.

Ssemwogerere yasinzidde mu kifo kino n’asaba bazukkulu ba Bubuganda bulijjo okuba abakozi wamu n’okuyigiriza abaana baabwe obuwanga n’ennono zabwe ng’emu ku ngeri eggya okuyamba okuzza Buganda ku ntikko.

‘’Emu ku mbeera eviriddeko obutabanguko mu mako saako n’obumenyi bw’amateeka okweyongera kwekuba nti abantu bangi tebakyayagala kukola ate nga baba n’obwetaavu nga bazukkulu ba Ndugwa mbasaba ensonga eno okugitwala nga nkulu ddala mukole musobole okukyusa obulamu’’Ssemwogerere bweyategeezezza.

Ow'ekitiibwa Mulwannyammuli ng'ali ku mukolo

Ow'ekitiibwa Mulwannyammuli ng'ali ku mukolo

Katikkiro w’ekika kino,Natiigo Kiwanda yasabye abazira kisa wamu n’ebeddira ekika kino okusitukiramu babakwasizeeko basobole okuzimba ekizimbe ky’obutaka bwaabwe.

Omwogezi w’ekika kino,Richard Kizza yategeezezza nti ekizimbe kino bwekinaaba kiwedde bagenda kukikolerako emirimu egyenjawulo egitwala ekika mu maaso bw’atyo naye n’asaba banne okukolera awamu ku nsonga eno.

Oluvannyuma baatemye evvunika ewagenda okuzimbibwa ekizimbe kino wamu n’okusiba olukomera wekigenda okuyita.

Tags: