KAMISONA avunanyizibwa ku kukuuma obutonde wakati mu nkulaakulana Ying. Leila Akello asabye abantu okwettanira abakugu okusobola okukuuma obutonde bwensi .
Okwogera bino ono abadde mu lukungaana lw’okujaguza olunaku lw’okukuuma akabubi akali ku ggulu ku ozon day gyabadde omugenyi omukulu nga omukolo gubadde ku Kyambogo yunivasite .

Ying. Leila Akello n'abalala
Ying. Akello agambye leero lunaku lwa kujaguza ensi bweyajja awamu okulagaanya abantu okukomya okukola ebintu ebikosa akabubi akatusiikiriza ku musana .
Agamba leero wegiweze emyaka 10 nga tujaguza olunaku lw’okukuuma akabubi
Agamba ng’ojjeeko amateeka g’ensi yonna , Uganda nayo erina etteeka erikuuma akabubi ako bwatyo nasaba abantu bonna okukozsa abakugu mu bintu nga fuliigi oba AC nga waliwo chemicals ezitalina buzibu ku butonde n’ezirina .
Isaac Mugabi okuva mu NEMA agamba akabubi kano bwekoononeka kalina obuzibu eri obulamu bwaffe omuli kookolo w’olususu , endwadde z’amaaso , okwonoona ebirime era nga n’ebisolo by’okulukalu ne mu mazzi nabyo bikosebwa