Amawulire

Minisitule y'ebyenjigiriza ereese obukwakkulizo ku masomero ga nnassale e wakiso

ABAKUNGU okuva mu minisitule y’ebyenjigiriza basisinkanye abasomesa mu masomero ga nnasale mu disitulikiti ye Wakiso ne bababuulira ku bukwakkulizo obupya kungeri gye bagenda okusomesaamu.

Dr. Safinah Mutumba ng'ayogera
By: Ssaava Peter, Journalist @New Vision
ABAKUNGU okuva mu minisitule y’ebyenjigiriza basisinkanye abasomesa mu masomero ga nnasale mu disitulikiti ye Wakiso ne bababuulira ku bukwakkulizo obupya kungeri gye bagenda okusomesaamu.
 
Ensisinkano eno yabadde ku ssomero lya Kisimbiri C/U e Wakiso, abasomesa baasomeseddwa ku nnongosereza eziri mu “Early Childhood Care and Education Policy” ng’omu ku kawefube w’okulaba nga eby’ensoma ebisokerwako bitumbuka.
 
Amyuka komisona w’ebyenjigiriza ebisokerwako Dr. Safinah Mutumba yategeezezza nti policy nnyingi zibadde ziretebwa naye ng’abasomesa tebazimanya olwo nebesanga nga pulogulamu za minisitule tezitambula nabamasomero.
 
“Bingi byetubadde tukyusakyusaamu wakati mukutumbula eby’enjigiriza, naye nga twesanga abasomesa tebamanya nteekateeka ziriwo, kwekusalawo enkola eno tugitongoze nga tutukirira abasomesa yonna gyebali.” Dr. Mutumba bweyayongeddeko.
Ok 69

Ok 69

 
Obukwakkulizo obwateereddwa ku b’amasomero ga nnasale;
Dr. Mutumba yagambye nti obumu kubukwakkulizo obuli mu nnongosereza empya kwekuli abasomesa abatalina buyigirize obutaddamu kusomesa baana kuba baba tebalina bukugu buyamba muyizi mu kibiina ssaako engeri gyebalina okumukwatamu.
 
Yayongeddeko nti abaana abaliko obulemu nabo batunuliddwa okulaba nga tebalekebwa wabweru, nga kino kirina kukolebwa basomesa kyokka nga bafuna era okulungamizibwa okuva eri abazadde b’abaana bano.
 
Dr. Mutumba yagambye nti ennongosereza endala kwekuli okusomesa abaana ku nyukakyuka y’obudde, okubasomesa kompyuta, okubabangula ku kikula ky’abantu nensonga endala ezikwata kuntambuza y’abaana mu masomero.
 
Ye akulira amasomero ga nnasale mu disitulikiti ye Wakiso, Janat Nakabugo yalaze okusomoozebwa kwebabadde nakwo kwebasuubira nti munnongosereza ezaakoleddwa kugenda kuyambako okutumbula ensoma y’abaana mu Wakiso.
 
Nakabugo yagambye nti okusomoozebwa kw’abo abakomye mu siniya ey’okuna okusomesa abaana, kiretedde abamu ku baana obutafuna kulambikibwa kumala kuba ababasomesa baba tebalina bukugu nangeri gye bakwatamu baana bato.
“Tugenda kukola ebikwekweto mu masomero gonna ag’abaana abato, okulaba ng’abasomesa abatalina dipulooma n’okweyongera waggulu tebaddamu kusomesa bayizi, kuba baba tebamanyi butya bwe babakwata.” Nakabugo bweyayongeddeko.
Dr. Safinah Mutumba ng'annyonnyola

Dr. Safinah Mutumba ng'annyonnyola

 
Yayongeddeko nti omwana omuto alina kutambuzibwa muzadde okutwala n’okujja omwana ku ssomero, sso sikumutambuliza mu mmotoka z’amasomero ezitambuza abayizi abakulu.
 
Yalaze okusomoozebwa olw’amasomero g’abato agatalina bibiina bimala, ekivirako abaana okubatabikatabika mu bibiina olwo nebasomesebwa nga babuzabuzibwa kuba baba tebawuddwa okusinziira ku myaka gyabwe.
 
Yalabudde abasomesa n’abakulu b’amasomero obutatuula butuuzi kuba ebikwekweto bigenda kukolebwa omuli nabo abalina abaana kyokka nga tebalina kabuyonjo z’abato kwebasobola okweyambira.
Tags: