ABEEBYOKWERINDA okukwata akabinja k’abasajja ababadde bawamba abantu e Buikwe, baalondodde layini za ssimu musanvu okubadde kusindikibwa ssente ne babakwata lubona n’abaana babiri be baawambye ku mubazi w’ebitabo.
Baabadde bawambye abaana babiri mu maka g’omubazi w’ebitabo, Patrick Mugabane
agasangibwa ku kyalo Naminya mu ggombolola y’e Njeru mu Buikwe ne bamusaba obukadde 100 okumubaddiza nga balamu.
Abaana abaabadde bawambiddwa nga September 7, omu yabadde wa myaka 10 ate omulala wa myaka mukaaga era ensonda mu oliisi zaategeezezza nti baabadde bagenderedde okuwamba abaana basatu kyokka omu n’aluma eyabadde amukutte n’abeesimattulako n’adduka.
Bambega abanoonyereza ku musango guno baategeezezza nti nga September 7, ku ssaawa ng’emu ey’akawungeezi nga Mugabane n’omukyala tebannadda waka, abaana baali mu nnyumba n’abakozi nga balaba TV, abasajja ab’emmundu ne babasalako ne bakuba abakozi ne babaggalira mu kisenge olwo ne batwala abaana.
Baaleka obubaka nga basaba babawe obukadde 100 bwe baba baagala okuddamu okulaba abaana baabwe nga balamu.
Ensonda zaagambye nti, nga September 10, baakubira Mugabane essimu ne bamutegeeza nti aluddewo okubawa ssente zaabwe era bw’aba takikoze mu bwangu, abaana be yabadde waakubasiibula mu bulamu kyokka ne bamugamba nti bw’aba aluddewo okubawa ssente, abaweereze ez’okubaliisa kuba bo baabadde tebalina kya kubaliisa, n’abasindikira ssente 350,000/-.
BAWAMBA BAAFUNA SSENTE Z’OUGUUDO LW’EGGAALI Y’OMUKKA:
Naminya, kye kimu ku bitundu ebyalambibwa awangenda okuyita oluguudo lw’eggaali y’omukka olwa Standard Gauge Railway (SGR). Mugabane y’omu ku bantu
be baaliyirira n’abalala bangi era abaana ba Mugabane, baabadde ba mulundi gwakusatu okuwambibwa mu kitundu.
Nga May 28, 2025, akabinja kano kaawamba Mollette Komugisha 51, bbaasa ku masomero ga bba, Moses Talemwa. Ono naye baamuggya waka we baamusanga ne bba ne babalagira beebake wansi olwo ne batwala omukyala.
Ensonda mu poliisi zaategezezza nti okuyimbula Komugisha, bba yasasula obukadde 102 ng’aziweereza ku ssimu.
Nga November 27, 2025, baawamba omwana Kaira Shakira 7, muwala wa dokita Moses
Ndiwalana ne bamusaba ssente obukadde 102. Dr. Ndiwalana yatwala omusango ku poliisi kyokka abaali bawambye muwala we ne bamuteeka ku bunkenke n’abawa ssente.
Abasajja bano, babadde bakozesa layini z’essimu musanvu kwe babadde balagira be bawambidde abantu bateeke ssente.
“Dokita bwe yasasula ssente, tetwamanya naye omwana baamusuula ku kkubo ne batuweerako n’ekirabo ky’emmundu gye baali bakozesa,” Ensonda mu poliisi bwe
zaategeezezza.
Bambega baagasseeko nti, “ Bwe baawamba omwana wa dokita, baamugamba aweereze obukadde 15 ku layini mukaaga ate ku layini eyoomusanvu ne bamulagira ateekeko obukadde 12. Buli gwe bawamba basaba obukadde 100, obukadde obubiri buba bwa
kuggyayo era babadde babagamba nti tukimanyi ssente muzirina kubanga mwakafuna ez’oluguudo lw’eggaali.”
ENGERI GYE BAABAKUTTE:
Omwogezi wa poliisi mu ggwanga, Kituuma Rusoke yagambye nti, baakutte abasajja
basatu okuli; Derrick Nkurunziza omutuuze w’e Naminya mu Njeru, Richard Odongo omutuuze w’e Bujowaali mu Njeru ne Dan Kasajja omutuuze w’e Nateete mu Kampala.
Yannyonnyodde nti, oluvannyuma lwa Mugabane okwekubira enduulu ku poliisi, baakwataganye n’ebitongole ebirala ne batandika omuyiggo okuzuula gye baabadde bakwese abaana.
Ensonda mupoliisi zaategeezezza nti bwe baalabye ng’abaawambye abaana basaba ssente ezifaanagana ne ze baasaba ku bantu ababiri abaasooka okuwambibwa, baanoonyerezza okuzuula akakwate era wano we baakitegeeredde nti Dr. Ndiwalana
ne Talemwa, baasasula ssente nga bayita ku layini z’essimu musanvu. “Wano we twafunidde entandikwa era mu kikwekweto kino, wakutte abantu abasoba mu 20
omuli n’aba mobile money we baggyirako ssente,” ensonda mu poliisi bwe zaategeezezza.
Bambega baagasseeko nti mu kunoonyereza, baagudde ku Nkurunziza eyabatuusizza ku Odongo nti kyokka ono yasoose kukaluba okutuusa lwe baamuggyiddeyo obujulizi obw’enkukunala n’alyoka agonda n’abatuusa ku Kasajja gwe yagambye nti ye mukama waabwe.
“Nnamba zonna kwe babadde basindika ssente za Kasajja wabula bwe twamukutte yagambye nti ssente abadde azifuna naye tawambanga ku muntu yenna,” ensonda bwe zaategeezezza.
BANOONYEREZEBWAKO KU BUNYAZI OBULALA:
Nga poliisi ekyagenda mu maaso n’okunoonya abalala abali mu kabinja kano, ensonda zaategeezezza nti, abakwate banoonyerezebwako ku bunyazi obulala obuzze bukolebwa.
Emmundu gye bakozesa kika kya Pump Gun, kyateegeezeddwa nti yabbibwa ku mukuumi w’ekitongole kya Bright Security Company, Ibrahim Tusubira bwe yali akuuma ekyuma ky’ebinyeebwa e Bugiri nga April 26. Odongo, yasangiddwa n’essimu ekika kya Samsung Galaxy egambibwa nti yabbibwa ku nnamukadde
ow’emyaka 70 ab’emmundu bwe baasalako ekkanisa y’Abalokole emanyiddwa nga Elim Pentecostal Church ku kyalo Bulanga mu ggombolola y’e Beitambogwe mu disitulikiti y’e Mayuge. Abasibe baakwasiddwa ekitongole ky’amagye ekikessi ekya Defense Intelligence and Security (DIS) edda eyali CMI okwongera okunoonyerezebwako