Amawulire

Nabbanja agumizza ku baakosebwa amataba

KATIKKIRO wa Uganda Robinah Nabbanja agumizza abasuubuzi abaakosebwa amataba mu Kampala mu October w’omwaka oguwedde nti mu bbanga eritasukka wiiki bbiri, bagenda kuba bafunye ssente zaabwe obuwumbi 20 Pulezidenti Museveni bwe yabasuubiza.

Nabbanja Katikkiro wa Uganda
By: Bukedde Omusunsuzi, Journalist @NewVision

KATIKKIRO wa Uganda Robinah Nabbanja agumizza abasuubuzi abaakosebwa amataba mu Kampala mu October w’omwaka oguwedde nti mu bbanga eritasukka wiiki bbiri, bagenda kuba bafunye ssente zaabwe obuwumbi 20 Pulezidenti Museveni bwe yabasuubiza.
Bino byabadde mu nsisinkano wakati w’abakulembeze ba FUTA ne Robinah Nabbanja eyabadde ku ofiisi ye mu Kampala ng’abasuubuzi baabadde bagenzeeyo abatangaaze ku nteekateeka y’okuwa abasuubuzi ssente ezaabasuubizibwa Pulezidenti.

Nabbanja yayongedde okukikkaatiriza nti ekyaviirako ssente zino okulwawo okutuuka eri abalina okuzifuna, gwe muwendo gw’abasuubuzi abaakosebwa okuba nga tegukwatagana okuva mu bibiina by’abasuubuzi okuli KACITA, FUTA, wamu n’olukalala olwaweebwayo KCCA.
“Olw’okuba twafuna omuwendo gw’abagambibwa okukosebwa amataba ogutakwatagana, twabiyingizaamu aba ISO bakakase amannya ago. Omulimu guno bagukoledde ebbanga eriwerako naye kati we gutuuse kumpi guwedde ng’abasuubuzi abaakosebwa bagenda kufuna ssente ku akawunti zaabwe mu bbanga eritasukka wiiki bbiri,” Nabbanja bwe yagambye.
Kyokka yennyamidde olw’abamu ku basuubuzi abazze bakozesa olulimi oluvvoola abakulembeze mu kiseera we babadde babanjiza ssente zaabwe n’abagamba nti abamu babadde batuuka n’okuvuma abakulembeze n’abasaba okweddako kubanga ebiseera ebimu boogera n’ebigambo bye batalinaako bujulizi.
Mu lukiiko luno, Pulezidenti wa FUTA John Kabanda yalaajanidde Katikkiro Nabbanja nti ne mu ofiisi ajula kuddukamu olw’abamu ku basuubuzi abaakosebwa okulowooza nti yalya ssente zaabwe, n’amusaba ssente ziteebwe naye afune ku buweerero.
Bino we bijjidde, ng’abasuubuzi abaakosebwa amataba bakyalaajana olw’embeera enyigiriza gye bayitamu era nga basaba abakwatibwako okubawa ssente ezaabasuubizibwa Pulezidenti Museveni mu bwangu.
Hassan Menya nga y’omu ku basuubuzi abaakosebwa yagambye nti, essanyu n’essuubi lye baafuna nga Pulezidenti abasuubizza obuwumbi 20 ligenze libaggwaamu olw’ebbanga eddene lye bamaze nga balindiridde ssente zino nga tebazifuna.
Ate Shalon Nandawula yagambye nti okuva enjega lwe yagwawo, akyalemeddwa n’okufuna ssente ez’okuzzaawo emmaali ng’essuubi lyonna limusigadde mu ssente ezaabasuubizibwa Pulezidenti.
Emmaali y’abasuubuzi okutokomoka, kyaddirira amataba agaabalumba nga October 31 omwaka oguwedde nga kirowoozebwa nti gaava ku nteekateeka ey’okuzimba ku mwala gwa Nakivubo eyali yaakatandika mu kiseera ekyo.

Tags: