Amawulire

Bamasinale ba Iran beegezezza mu kukuba Kaaba e Mecca, America n’eyiwawo omubiri

AMAGYE ga America gasiitaanye nga gataasa ekibuga Mecca mu Saudi Arabia, bamasinale ba Iran bwe babadde beegeza mu kukuba ekibuga ekitukuvu awali Kaaba n’emizikiti egy’ebyafaayo.

Kaaba, Abasiraamu we bagenda ne balamaga yasimatusse.
By: Bukedde Omusunsuzi, Journalist @NewVision

MECCA, Saudi Arabia
AMAGYE ga America gasiitaanye nga gataasa ekibuga Mecca mu Saudi Arabia, bamasinale ba Iran bwe babadde beegeza mu kukuba ekibuga ekitukuvu awali Kaaba n’emizikiti egy’ebyafaayo.

Mu lulumba luno, abalwanyi aba Houthi abawagirwa Iran baabadde baagala kukuba basaanyeewo omuzikiti ogw’ebyafaayo mu kifo ekitukuvu ekya, ‘Holy Site of Makkah Al-Mukarramah.’
Ekyo baabadde baagala bagatteko ne Kaaba, ekifo ekisinga okuweebwa ekitiibwa mu Busiraamu.
Emmundu yavuze ng’eggye ly’Obwakabaka bwa Saudi Arabia erya Royal Saudi Armed Forces, liyambibwako eggye lya America okulemesa obulumbaganyi buno.
Aba Houthi abayeekera ba Yemen, Iran yabawa emmundu ne tekinologiya eby’amaanyi ebyabatuusa n’okuwamba ekibuga ekikulu Sanaa, olwo Gavumenti n’ebeera ng’ewang’angukidde eyo mu byalo gye yateeka obukulembeze bwayo.
Ekyakoleddwa kyaleese embeera mu kibuga ekyo etebangawo bukya kitondebwawo.
Obugombe obulabula abantu beekweke bwavugidde kumukumu ng’abakulira ekibuga ekyakazibwako n’erya ‘holy city,’ balabula abantu bagwe kkava okuwona ekibabu.
Mu kadde ng’abantu basattira mu kibuga, amagye ga America gaasumuludde emmundu ekika kya Patriot batteries, ezibaka ebikompola ne mizayiro ne lwogooma nga ye yasirisizza buli kyakulwanyisa kya Houthi kyokka nga buli lw’eboggola, ebizimbe mu Mecca biyuuguuma.
Zaatandise okunojjola ennyonyi za drone ezeevuga zokka mu bwengula bwa Saudi Arabia nga zoolekedde Mecca.
Amangu ddala nga ziwanuddwaayo embeera n’edda mu nteeko n’obugombe ne busirika, amawanga mu nsi yonna naddala ag’Abasiraamu, gaavumiridde ekikolwa ky’okwegeza mu Mecca ekibuga bulijjo kye bataliza mu ntalo.
Iran bwe yaggala akagolomolo ka Strait of Hormuz, yakoze kinene abayeekera ba Houthi b’ewagira mu Yemen ne bawamba akagolomolo akalala ku liyanja lya Red Sea akayitibwa Bab el-Mandeb Strait ne balemesa emmeeri za Saudi okuyitawo. Saudi yeesasuzza na kubakuba ebazze amabega bave mu kagolomolo ng’eyamba Yemen.
Mu kunyinyittira kw’emmundu okw’amaanyi eyatandise wiiki ewedde, aba Houthi abaabadde bookebwa ennyonyi za Saudi ng’ebakuba mizayiro ez’okumukumu mu ddungu, beekyaye ne basindika ennyonyi za drone ezeevuga zokka mu kibuga Mecca bakyokye.
Okumanya Houthi bataamye, Saudi Arabia yasabye amawanga mu Buwalabu gagiyambe okubeetakkuluzaako olw’emmundu gye baasumuludde eyabatuusizza n’okuwamba olubalama lw’eriyanja lya Red Sea lwonna ku magye ga Gavumenti ya Yemen eri mu kibuga Aden.

Tags: