Amawulire

Pulezidenti Museveni atenderezza Gen. muhwezi olw'okulwanirira eddembe

PULEZIDENTI Museveni asabye bannayuganda okwongera okwettanira enteekateeka za Gavumenti ezikulaakulanya, kibayambe okweggya mu bwavu. Museveni obubaka yabutisse amyuka sipiika wa Paalamenti, Thomas Tayebwa ku mukolo minisita w'obutebenkevu era omubaka wa Rujumbura mu palamenti Maj Gen. Jim Muhwezi kweyebalizza Katonda olw'okuddamu okuwebwa ekifo kya minisita ssaako okuweebwa ekya ssabakunzi wa PLU mu Rukungiri. 

Thomas Tayebwa ng'ayogera eri abantu abeetabye mu kusaba
By: Ssaava Peter, Journalist @New Vision
PULEZIDENTI Museveni asabye bannayuganda okwongera okwettanira enteekateeka za Gavumenti ezikulaakulanya, kibayambe okweggya mu bwavu.
 
Museveni obubaka yabutisse amyuka sipiika wa Paalamenti, Thomas Tayebwa ku mukolo minisita w'obutebenkevu era omubaka wa Rujumbura mu palamenti Maj Gen. Jim Muhwezi kweyebalizza Katonda olw'okuddamu okuwebwa ekifo kya minisita ssaako okuweebwa ekya ssabakunzi wa PLU mu Rukungiri. 
 
Ku mukolo guno ogwabadde ku kisaawe e Kasorooza mu disituliki ye Rukungiri,
Museveni yagambye nti Gavumenti etadde ssente nnyingi mukukola enguudo, okubunyisa amasannyalaze, okutumbula eby'obulamu nebirara kyokka nti abantu bwe batafaayo kwejja mubwavu, Gavumenti eba nga ekoledde obwerere.
 
Museveni yasiimye nnyo Muhwezi olw'ettafaali lye yateeka mukureeta emirembe mu ggwanga, bwe baakola ennyo okununula eggwanga ku bayekera, nasaba abantu omulabira ku ye bakuume emirembe.
Muhwezi ng'ayogera eri abantu abeetabye mu kusaba

Muhwezi ng'ayogera eri abantu abeetabye mu kusaba

 
Yasomoozezza nnyo abagezaako okutabangula emirembe, nti bano tebajja kusobola kuba Gavumenti enywezezza eby'okwerinda era eggwanga lirimu obutebenkevu.
 
"Uganda kati esanyusa kuba mulimu emirembe, kino kiretedde ne bamusiga nsimbi okugyettanira ne baleeta ne pulogulamu ezikulakulanya. Tetujja kukkiriza batabangula mirembe mu ggwanga" Museveni bweyayongeddeko. 
 
Ye Muhwezi yeebazizza nnyo Pulezidenti Museveni olw'okumutekamu obwesige n'amuwa obuvunanyizibwa obw'enjawulo ekimuyambye okubuulira enjiri ey'emirembe ssaako okwekulakulanya.
 
Muhwezi yagambye nti okwekwata ku Katonda, okwewala ebikolwa by'enguzi n'obulyake bye bimufudde omukulembeze omulungi ayagalibwa buli muntu.
 
"Obuwanguzi bwe nnafuna ssaako obuvunanyizibwa obwampebwa Pulezidenti ssibwange ng'omuntu nzekka wabula bwammwe mwenna abakkiririza munkulakulana ssaako okwagalana." Muhwezi bweyayongeddeko. 
 
Omukolo gwatandise n'okusaba okwakulembeddwa omulabirizi wa North Kigezi, BP Onesimus Asiimwe eyasabye abantu bulijjo okwebaza nga Katonda olw'ebirungi bye batuseeko mubulamu bwabwe.
 
Bp Asiimwe yasiimye nnyo Pulezidenti Museveni olw'okuzimba eggye ery'empisa ate erikubiriza abantu okukuuma emirembe n'okukulakulana ewatali kulwanagana nabo.
Thomas nga bamwaniriza ku mukolo

Thomas nga bamwaniriza ku mukolo

 
Yasiimye Muhwezi olw'okutukiriza ebyo byazze asuubiza abantu ng'anoonya akalulu, ssaako okutuusa ensonga ezisomooza abantu mu Rukungiri eri Pulezidenti era zino nezikolebwako.
 
Kyokka Bp Asiimwe yasomoozezza bannabyabufuzi bonna okukulembeza nga Katonda mubulamu bwabwe kubanga teri bukulembeze butava eri Katonda.
 
 Obukaddr 700 bwe bwasondeddwa okuwagira omulimu gw'okuzimba ekkanisanya Kasoroza Church of Uganda, oluvannyuma nebatongoza okukunganya emikono egisemba Gen Muhoozi Kainerugaba okwesimbawo kubwa Pulezidenti mu 2031.
 
Omukolo gwetabiddwako bannabyabufuzi ab'enjawulo, bannadiini, abawagizi ba NRM ne PLU ssaako n'abakungu abalala bangi.
Ends...................
Tags: