KITALO! Omuyaaye yamulondodde n’amuliimisa okutuusa lwe yamuguddeko ekiyiifuyiifu, okukkakkana ng’amukubye ekikonde ekyamuggye mu bulamu bw’ensi eno.
Bino bye bimu ku byogerwa ku nfa y’omuyimbi Moses Matovu, 77, owa Afrigo, poliisi gwe yatuuseeko ku makya ddala ng’ali bubi okumpi awo we yabadde asimbye mmotoka ku kyalo kwennyini kw’abadde abeera e Kibuli.
Kigambibwa nti zaabadde mu ssaawa nga 10 ez’oku makya ku Lwokuna e Kibuli mu Market Zone B. Matovu yagudde kumpi ne we yabadde asimbye mmotoka ye Land Rover, UAR 982H eya kiragala ne bamuyoolayoola okumutwala mu ddwaaliro e Kibuli gye yafiiridde nga yakatuusibwa.
We baamuttidde waliwo kkiromita ng’emu okuva ku maka ge, yabadde ayambadde empale nzirugavu, essaati njeru n’engatto nzirugavu era okutuuka we baamuttidde, yagenze yeevuga era mmotoka poliisi yagitutte nga ekizibiti.
Gye yabadde ava okutuuka okuttibwa waabadde wakyatankanibwa ng’abamu bagamba
yabadde ava ku Sheraton Hotel mu Kampala ate abalala nga bagamba yabadde avudde mu maka ge era abamu ku ba ffamire baagambye nti yabadde agenda kusaala Subuhi ku muzikiti gwa Lubowa oguli kinnya na mpindi ne we baamuttidde.
Matovu, y’omu ku batandisi era y’abadde akulira Afrigo Band gye baatandika mu 1975, abadde mukubi wa bivuga ng’ate muyimbi nnakinku.
EBYABADDEWO NGA MATOVU ATTIBWA:
Okusinziira ku bambega ba poliisi abanoonyereza ku musango guno, agambibwa
okuba nga ye yasse Matovu yategeerekese nga Arnold Sitenda omukozi mu kkampuni
y’obwannannyini emu enkuumi erina ekitebe kyayo ku Old Kampala, ye maneja avunaanyizibwa ku kugaba n’okuweereza abakuumi mu bifo gye balina okukuuma.Omu ku baliraanwa ataayagadde kwatuukiriza mannya ge yagambye nti ye akola mulimu gwa
kutabula miziki (DJ) era yabadde yaakadda olutalo we lwatandikidde.
Agamba, Tusiime bwe yagguddewo oluggi, Sitenda yamukutte okumukuba olwo Matovu n’agezaako okutaasa ebikonde bye baabadde bakuba Tusiime ne bidda ku ye.
“Matovu bwe yalabye olutalo taalusobole, yadduse n’akkirira, Sitenda n’agenda ng’amugoba ne Tusiime n’agoberera okutuuka ku mmotoka era awo Sitenda we yamukubidde ekikonde n’agwa wansi n’akubawo enkoona,” Muliraanwa bwe yagambye.
Paul Diyogo omuvuzi wa boda mu kitundu eyayoddeyodde Matovu okumutwala mu ddwaaliro e Kibuli yagambye nti zaabadde ssaawa nga 11 ez’okumakya ng’alina kasitoma gwe yabadde ava okutwala mu kibuga kwe kusanga Matovu ng’agudde wansi nga Sitenda alwanagana n’omuwala.
“Mu kaseera ako yabadde akyalimu obulamu era nnamutadde ku pikipiki ne mmutwala e Kibuli mu ddwaaliro wabula nnabadde nnaakakomawo ne bawala be ne batuuka ne batugamba abadde afudde.” Diyogo bwe yagambye.
POLIISI EYOGEZZA OMUWALA GWE YABADDE NAYE:
Omwogezi wa poliisi mu Kampala n’emiriraano, Racheal Kawala yagambye nti bagguddewo ffayiro y’obutemu era okunoonyereza kwabwe ku kyavuddeko Matovu okutemulwa kwabadde kutandise.
Wakati mu kunoonyereza, bambega baagudde ku Tusiime ne bamutwala ku poliisi y’e
Kibuli oluvannyuma gye yaggyiddwa n’azzibwayo ku kyalo we battidde Matovu n’alaga
abaserikale ebyabaddewo.Tusiime yategeezezza abaserikale nti ye ne Matovu babadde ba mukwano nnyo era Sitenda we yabasangidde, baabadde mu nnyumba nga banyumya n’akonkona kyokka bwe baaluddewo okuggulawo kwe kukuba endabirwamu n’agyasa.
Agattako nti ye ne Sitenda baali baagalana kyokka baayawukana era babadde tebakyalina nkolagana yonna.
Tusiime alina abaana bana okuli n’abalongo kyokka bano babeera ne nnyina era mu nnyumba abadde asulamu yekka kyokka kigambibwa nti Sitenda y’abadde agimusasulira.
Kawala yagambye nti Tusiime baamukutte abayambeko mu kunoonyereza era ku ssaawa eno ne Sitenda bafunye ebimukwatako ng’essaawa yonna bajja kuba bamufuna gye yeekukumye.
Yayongeddeko nti omulambo baaguggye e Kibuli ne bagutwala mu ggwanika e Mulago okwekebeggyebwa.
EBIZIBITI BYE BAGGYE MU KIFO:
Ng’oggyeeko mmotoka ya Matovu, bambega ba poliisi baakung’aanyizza ebizibiti ebirala okwabadde n’ejjinja eryasangiddwa mu kifo Matovu we yafiiridde abamu lye baabadde bagamba nti bwe yagudde kwe yakubye omutwe ng’ate abalala bagamba nti
Sitenda agambibwa okumutta nalyo yalikozesezza. Ebirala bye baatutte kwabaddeko
ebintu ebyasangiddwa mu nnyumba y’omuwala omwabadde n’ebimu ebigambibwa ,nti byabadde bya Matovu.
BAVUMIRIDDE ETTEMU:
Abantu ab’enjawulo abaagenze e Kibuli we battidde Matovu okwabadde n’akulira ekitongole ekirung’amya eby’empuliziganya mu ggwanga ekya Uganda Communications Commission (UCC), Nyombi Thembo baavumiridde ettemu eryakoleddwa ne basaba abeebyokwerinda okukola buli ekisoboka okukwata omutemu.
Yagasseeko nti Matovu abadde mpagiruwaga mu kisaawe ky’ebyokuyimba okumala emyaka 50 era teri muyimbi yeenyumiriza mu kuyimba atayiseeko mu mikono gya Matovu. Yennyamidde olw’abantu ababadde abagundiivu mu kuyimba ababavuddeko
n’agamba nti eggwanga lyakafiirwa Alex Mukulu.
Thembo yagambye nti yasembye okwogera ne Matovu ku Lwokusatu ng’amusaba okumuyimbira ku mukolo gw’okuyingira amaka ge ogugenda okubeerawo mu December wabula kyamukubye wala okukeera nti ate attiddwa.
FAMIRE EYOGEDDE:
Muwala wa Matovu, Zam Namatovu yagambye nti abantu baabagambye ku ssaawa nga 11 ez’oku makya nti kitaabwe akubiddwa wabula baagenze okutuuka mu kifo nga mmotoka y’eriwo nga ye bamututte mu ddwaaliro. Ono mu maziga yagambye nti kitaabwe babadde tebamulabangako mu Market Zone era beewuunyizza okuba nga baamuttidde eyo. Yagambye nti nnyina baabadde bamulese waka wabula bwe batuuse
ne basanga nga bamututte mu ddwaaliro kwe kutegeeza nnyina n’akuba essimu ku ddwaaliro n’abuuza oba Matovu yabadde atuusiddwa ne bamutegeeza nti yabadde afudde tannaweebwa na kitanda.