EKITONGOLE kya NSSF, ekitereka ssente z’abakozi kibayiyeemu kavvu nga y’asoose mu byafaayo byakyo okuba omungi.
Kirangiridde amagoba (interest) ga bitundu 22.53 ku buli 100 ku ssente buli atereka ne NSSF z’alina okufuna.
Omwaka oguwedde kyalangirira ebitundu 13.5 ku buli 100, era bammemba bangi babadde basuubirira awo mu bitundu nga 14.5 ekyabewuunyisizza nga batuuse mu bitundu 20 n’okusoba ne bagwa eddalu.
W’osomera bino nga bammemba abali eyo mu kakadde kamu n’okusoba bali ku ‘kaliculeeta’ babala buli omu z’afuna ng’asinziira ku ssente mmeka z’alina mu kitongole ekyo.
NSSF etereka ssente z’abakozi nga zisalibwa ku misaala buli mwezi kyokka waliwo n’abeeyagalira ne batereka n’ekibiina ekyo.
Zikuweebwa owezezza emyaka 55, oba okukuwaako ebitundu 20 ku 100, ng’owezezza emyaka 45 ate ng’era owezezza emyaka 10 ng’otereka n’ekitongole ekyo.
Mu lukungaana lwa buli mwaka era nga luno lwe lwabadde olukungaana olwa 14, akulira ekitongole kino Patrick Ayota eyabadde ne minisita Henry Tumukunde ow’abakozi n’ekikula ky’abantu.
Minisita w’ebyensimbi Henry Musasizi ye yalangiridde ebitundu 22.53 ku buli 100 ekyacamudde abakozi ku mukolo ogwabadde mu Serena Hotel