OMULANGIRA Edward Kijjanangoma mu kiro ekikeesezza leero akoze emikolo egimukakasa okulya engoma ya Tooro.
Emikolo nga gigenda mu maaso

Omukama Kijjanangoma Nyabong mu kifaananyi ne basajja be
Olutalo luno lwabadde lwa buwanvu bwa mmayiro ssatu era kaabadde kayisanyo ng'Omulangira Kijjanangoma awerekerwako Abatooro mu kulwana olutalo luno olwetabwamu abaami bokka abakutte emmuli ng'ezimu zaabaddeko omuliro.

Emmuli ezakozeseddwa mu lutalo lw'emmuli oluyitibwa e Obulemu
Okutuuka ku lubiri e Karuziika ku mulyango Mugabante yakwasiddwa effumu, n'afumita ente enjeru emirundi esatu bwatyo nayolekera enju enkulu mu Lubiri luno n'ayanirizibwa Omusuuuga Charles Kamurasi eyamukozeseza emikolo okuli okukuba ku ngoma emirundi egiwera, okutuuzibwa ku Nnamulondo y'Obukama, n'alagibwa engabo ya Tooro, okuyimbirwa amakondere nga muno mu beeramu amazina agazinibwa abasajja n'aga abakyala n'emikolo emirala egibaddewo mu kiro nga gyetabiddwako nnamungi w'abantu.

Emikolo wano nga gigenda mu mnaaso
Minisita wa gavumenti ez'ebitundu,Balamu Barugahara y'omu ku beetabye ku mukolo guno era yalaze obwetegefu bwa gavumenti ya Uganda okukuuma obuwangwa bwa Bannayuganda.

Musuuga ng'akola emikolo gy'okussaako King wa Tooro
Abakulembeze bangi e Tooro nga bakulembeddwamu Omubaka wa Palamenti Tom Brighton Amooto owe Kyaka Central n'abalala baayogedde ku kkula lino Tooro lyetuseeko okufuna Omukama omuggya.

Rikidi Kijjanangoma ng'atudde mu Ntebe y'obwakabaka

Enkya ya leero emikolo gy'okumutuuza egisembayo lwegikolebwa mu Lubiri e Karuziika naye ng'agenda kusooka kusabirwa ku lutikko y'Omutukuvu John mu kibuga Fortportal.