Abavuzi b’emotoka za special e Nateete baguddemu entiisa, omutemu bwasozze munaabwe ekiso mu bulago naamutta bwabadde yebase mu mmotoka ye.
Bino bibaddewo eggulo ku lw’okusatu ku ssaawa 12 ez’akawungeezi, Thomas Batiibwe Twase abadde omuvuzi wa special e Nateete ku bitaala, bwatemuddwa mu ntiisa, naafa nga bamuddusa mu ddwaaliro e Lubaga. Omutemu yamusaze mu motoka ye ekika kya NOA new model UBL 731X naufumita ekiso mu mulago ekyamuggye mu budde.

Nu 89(1)
Namwandu wa Batiibwe nga ye Sarah Naggayi Batiibwe, agambye nti bamuyise ku mulimu gwe wakolera saluuni e Nateete nga bba bamufuise ekiso, era yasanze kikyamulimu mu bulago, wabula yasobodde okusonga ku muvubuka eyamufumise naakwatibwa.
Ono agamba baakozesezza emotoka y’omugenzi yenyini okumuddusia mu ddwaaliro e Lubaga, wabula nafiira mu kkubo nga bamutwala bagenze outuuka e Lubaga nga yafudde dda, omulambo negwongerwayo mu ddwaaliro e Mulago okwongera okwekebejjebwa.
Mulekwa Paul Tamale agamba nti, ababaddewo nga kitaabwe attibwa babategeezezza nti, omuvubuka yasoose kujja ku mmotoka y’omugenzi nebanyumya ng’alinga amuwa omulimu, wabula bweyagifulumyemu waliwo abaamulabye ng’agikuba ebifaananyi, wayiseewo essaawa ntono, omuvubuka oyo yenyini naakomawo, yasanze muzeeyi agalamiddeko mu mutto naamufumita ekiso.
Muzeeyi yasobodde okulwana nga bwayita banne n’okusonga ku muvubuka amufumise ekiso, yabadde agezaako okudduka nebamukwata era akuumirwa ku poliisi e Nateete.
Omugenzi bamwegezaamu okumutta mu 2012.
Paul agamba nti, kitaabwe bazooka kumwegezaamu okumutta mu 2012, abavubuka bwebamupangisa nebamutwala e Kinaawa nebamuteeka emiguwa mu bulago okumutugira ku mutto, wabula yakozesa obwangu naggula oluggi neyeesikambulamu emiguwa nasobola okubatolokako.

kitaawe wa Muwonge agambibwa okutemula Batiibwe yazirikidde ku poliisi ng'ategedde nti mutabani we asse omuntu
Era abavubuka bano abaali bagezaako okumumiza omusu baakwatibwa nebasibwa, naye nga babadde tebamanyi oba bakyali mu kkomera oba bateebwa.
Omugenzi yabawandiikamu ekitabo nateekamu ebifaananyi byabwe byonna abaali bagezaako okumutta nga naye yebuuza ekigendererwa kyabwe, kubanga baali baana bato ddala.
Ab’oluganda basabye poliisi okunyweza omutemu kubanga muvubuka muto, bamanye b’ani abali emabega w’obutemu obwakoleddwa ku muntu waabwe.

Amaka g'omugenzi e Bulaga
Racheal Kawala omwogezi wa Poliisi mu Kampala n’emirirano yategezezza nti, omutemu Sinani Muwonge 19 yakwatiddwa poliisi ye Nateete ng’ono abatuuze ababaddewo ngakola ettemu bamutaayizza nebamutwala ku Poliisi era yaguddwako dda omusango nga ne Poliisi bweyongera okukola okunonyereza.
Ye taata w’omuvubuka Muwonge agambibwa okufumita Batiibwe ebiso ebyamusse, olutuuse ku poliisi e Nateete naalaba ku mutabani we ng’ali mu kkomera ku gw’okutta omuntu, azirise nebamuddusa mu ddwaaliro ng atamanyi biri ku nsi.