KYABAZINGA wa Busoga, Wilberforce Gabula Nadiope IV akubirizza Abasoga abali mu mawanga ga Buwarabu naddala mu United Arab Emirates omusangibwa Dubai ne Abu Dhabi obuteerabira buwangwa n’ennono zaabwe era bafube okulaba nga kye baba bafunye bakizza ku butaka.
Yabyogeredde ku mukolo ogwamutegekeddwa Abasoga ababeera mu UAE ogw’ebikujjuko by’emyaka 12 ng’alamula Obusoga ogwabadde ku Mövenpick Jumeirah Hotel.
Kyabazinga yabasabye banyweze obuwangwa bwabwe, empisa n’okubeera abakozi kuba bye bijja okubatuusa ku buwanguzi gye bakolera ne bwe banaaba bakomyewo mu Uganda.
Yabagumizza ng’Obwakyabazinga bwe buliwo okubawa obuwagizi mu mbeera yonna mu mirimu gye bakola era n’abasaba okubweyambisa kuba enzigi nzigule. Ebbanga lye banaamala nga bali ebweru, yabakubirizza obuteerabira gye baava era n’abawa amagezi okwenyigira mu bulimi bw’emmwaanyi ne Cocoa ebijja okubayamba mu biseera byabwe eby’omu maaso.
Ku bugenyi Kyabazinga yawerekeddwaako minisita w’ensonga z’Obwapulezidenti, Milly Babalanda, n’omuwandiisi ow’enkalakkalira owa minisitule y’ekikula ky’abantu, Dr. Aggrey David Kibenge.
Omukolo gwategekeddwa Abasoga ababeera mu UAE abaakulembeddwa ambasada Zaake Wanume Kibedi n’Abasoga abeegattira mu kibiina kya BUSOGA YAIFFE UAE Chapter, abakulirwa John Mugabi.
Dr. Kibenge yasabye Abasoga bakozese enkola y’okutereka ssente mu kittavvu ky'abakozi ekya NSSF basobole okwetegekera ebiseera byabwe eby’obukadde.
Minisita Babalanda yagambye nti omuntu obutabeera Busoga, tekimugaana kukuuma buwangwa n’ennono nga boogera Olusoga, n'okulusomesa abaana baabwe.
“Gy'oliva ne gy'oligenda yonna, ewaka we wasinga, wadde obulamu buyinza okuba nga bulungi eno gye muli. Mubeere ababaka abalungi aba Busoga ne Uganda,” Babalanda bwe yabategeezezza.
Kyabazinga era yalambuddeko eddwaaliro lya Burjeel Medical City erisangibwa mu Abu Dhabi n’asaba abalikulira okujjako mu Uganda balabe engeri gye bayinza okukwataganamu n’amalwaliro ga kuno nga Jinja Hospital mu kutumbula ebyobulamu.
Ebikujjuko bye Dubai byaddiridde omukolo gw’amatikkira omunene ogwaliwo nga September 19, 2026 mu disitulikiti y'e Mayuge. Kyabazinga yatikkirwa nga September 13, 2014 ku kitebe e Bugembe mu disitulikiti y'e Jinja.