Amawulire

Bapayirooti bayombedde mu bwengula ku bya America ne Iran ennyonyi n'abatabukako

ENNYONNYI y'abasaabaze eyuugiddeyuugidde mu bwengula nga bapayirooti baayo basitudde oluyombo ku by'olutalo lwa America, Yisirayiri ne Iran okukkakkana nga bagiwugudde ne ne bagiwummuza mu nsi gy’ebadde terina kugwamu.

Ennyonyi ya Russia T-95 eyagudde yabadde nga eno eri mu kifaananyi. Wano F-16 eya America bwe yali egitangira okwekulubeeseza ku ya America omwaka oguwedde.
By: Bukedde Omusunsuzi, Journalist @NewVision

ENNYONNYI y'abasaabaze eyuugiddeyuugidde mu bwengula nga bapayirooti baayo basitudde oluyombo ku by'olutalo lwa America, Yisirayiri ne Iran okukkakkana nga bagiwugudde ne ne bagiwummuza mu nsi gy’ebadde terina kugwamu.
Ennyonyi yabadde mu bwengula ng’eva Dubai ng’eyolekedde ekibuga Tel Aviv ekya Yisirayiri, bapayirooti ne bayombagana nga kigambibwa nti buli omu yabadde alina oludda lw'awagira ku lutalo lwa Iran ne America ne balema okukkaanya ennyonyi ne bagiwummuza e Saudi Arabia basooke bamale ebizibu byabwe.

Eggulo ku kisaawe e Dubai, abasaabaze baalinnye ennyonyi ya kkampuni ya Fly Dubai okugenda mu Tel Aviv, ekitali kya bulijjo ng’emaze okusimbula, ennyonyi eno yatandise okusindika obubaka ku kisaawe gy’eva obulaga nti waliwo ekitali kituufu.
Amawulire ga CNN gaakiyise ‘violent incident,’ ekitegeeza nti, waabaddewo ekizibu ekikwatagana na kuyomba, okulwana oba ekirala.
Mu kavuvung’ano ako akakyanoonyerezebwako, ennyonyi eyabadde emaze okutumbiira mu bwengula bwa Saudi Arabia mu kadde ako, mu kifo ky’okugenda mu maaso ku buwanvu kw’erina okutambulira, yagenze ekka okukkakkana ng’esse ffuuti 17,400 ekitakkirizibwa.
Mu kadde kano, obudde obulaga nti ennyonyi evugibwa mu ngeri eteri ntuufu, bwenasudde ne bukaaba ng’abali mu nnyonyi babuwulira bubalagira beesibe emisipi wadde nga baabadde tebamanyi kituufu kigenda mu maaso.
Ku kisaawe e Dubai gye baabadd bava, nayo baalabye ku mirongooti embeera etaabadde ya bulijjo nga n’e Tel Aviv tebamanyi kigenda mu maaso.
Ku bisaawe byombi, baasoose kulowooza nti waliwo bannalukalala abawambye ennyonyi eyo. Mu Dubai, yavuddeyo kiro ssaawa musanvu n’ekitundu. Mu bwangu, amawulire gaasaasaanidde abeebyokwerinda mu Buwarabu ekyaleetedde Katikkiro wa Yisirayiri, Benjamin Netanyahu okuduumira eggye lye ne liyungula ennyonyi ennwaanyi okwolekera ennyonyi gye yabadde eva.
Abakola ku mirongooti gy’entambula z’ennyonyi bwe baalemeddwa okumanya ekituufu ekigenda mu maaso, baalagidde abagoba b’ennyonyi eno ekke ku kisaawe ky’ennyonyi ekiri okumpi mu bwengula we baabadde. Baabadde bayingirira Jordan nga bamazeeko Saudi Arabia, wabula baalagiddwa bagizze e Saudi kuba ebisaawe byayo, bye byabadde okumpi.
Bambega ba Yisirayiri bagamba nti, omu ku bapayiroti, yeekyaye n’agezaako okukola ku munne obulabe kyokka omusaabaze Omuyisirayiri, n’ataasaMOSCOW, Russia
ENNYONYI ya Russia lugogoma emu ku zibadde zikuba Ukraine enkya n’eggulo, egudde yeetegekera okugenda mu ddwaaniro n’etta bakafulu mu kubonga ennyonyi z’amagye n’okukasuka bbomu.
Ennyonyi Tu-95 Strategic Bomber, emu ku zisinga amaanyi mu nsi yonna nga mu Russia y’esinga, egudde mu ssaza lya Amur mu ggwanga eryo, abaagibaddemu mukaaga okuli abagoba baayo n’abakubi ba bbomu kuwonyeeko omu.
Ennyonyi eno okusinziira ku mawulire ga Moscow Times, yabadde yeegezaamu mu kukasuka bbomu, emisinde gy’erina okuddukira mu ddwaaniro, tagyeti z’erina okukuba n’ebirala okutuusa lwe yalemeredde abaagibaddemu n’etandika okuyuuga nga bagivuga kudda muno, nga yo edda muli.
Ennyonyi eno eyagudde ku Lwokubiri, esobola n’okukasuka bbomu za nukiriya, era Pulezidenti wa Russia, Vladimir Putin okuva lwe yalagira basajja be babeere bulindaala okuzikozesa singa Bulaaya erumba Russia, ennyonyi zino zibadde zeegezaamu n’engeri gye ziyinza okukasuka bbomu omuli n’ez’ekika ekyo.
Kigambibwa nti ennyonyi eno okugwa ku kyalo Krasnoyarovo mu ssaza lya Amur n’ewonamu omuntu omu kati ajjanjabwa ebisago eby’amaanyi, emu ku yingini zaayo ennya.
Amawulire ga Interfax News Agency mu Russia gagamba nti, minisitule y’eggwanga eryo ey’ebyokwerinda yatandise dda okunoonyereza ku kyavuddeko akabenje ako. Ennyonyi eno yasimbudde mu nkambi kw’ebadde ekolera eya Ukrainka Air Base, n’egwa mayiro 18 n’ekitundu okuva ku nkambi we yavudde.
W’egwiridde nga Pulezidenti wa Ukraine, Volodymyr Zelenskyy akaaba olwa Russia okukuba eggwanga lye entakera nga ku Mmande, ekibuga Kiev kyakubiddwa mu ngeri gy’oyinza okugamba nti tebangawo.
Yakubye amasomero, amalwaliro n’ettendekero ery’ebyafaayo erya National Academy of Science lyakubiddwa ne libengeya.

Tags: