OLUKIIKO olusalawo ku by’okukulaakulanya ekibangirizi kya Constitutional Square olugatta minisitule omukaaga, lutudde ne bateesa ku bye bagenda okussa mu lipooti gye banaddiza omukulembeze w’eggwanga.
Okusinziira ku minisita wa Kampala, Hajjati Minsa Kabanda, olukiiko lwatudde ku Lwakuna lwa wiiki ewedde nga lwetabyemu minisitule ezaaweebwa obuvunaanyizibwa bw’okwekenneenya ebbaluwa Pulezidenti gye yabawa.
Pulezidenti yalagira minisita wa Kampala akwatagane n’ebitongole ebivunaanyizibwa, beekenneenye okusaba kwa Hajji Hassan Bulwadda ayagala okukulaakulanya Constitutional Square ekya yiika ebbiri kifuulibwe eky’omulembe nga kiriko wooteeri, ssemaduuka, n’ebintu ebirala eby’omulembe.
Akakiiko minisita ke yateekawo ng’akolera ku kuwabula kwa Pulezidenti kuliko; minisita omubeezi ow’ebyobulambuzi Susan Nakawuki, minisita omubeezi ow’ensonga z’omunda Juma Witonze, minisita w’ebyettaka Judith Nabakooba, ssaabawolereza wa Gavumenti, Dr. Sam Mayanja, minisita w’ensonga z’Obwapulezidenti Milly Babalanda ne minisita omubeezi owa Kampala Kabuye Kyofatogabye.
Kabanda yawandiikira n’abakulira ekitongole ekivunaanyizibwa okuteekerateekera eggwanga ekya National Planning Authority okubaweereza omuntu gwe banaatuulanga naye bw'abeera ng’akulira ekitongole, Dr. Joseph Muvawala taafune budde.
Okusinziira ku Kabanda, akakiiko kaatudde ku Lwokuna lwa wiiki ewedde ne babeerako bye bakkaanyaako. “Bannayuganda kye nnyinza okubategeeza mu kiseera kino tewali kyasaliddwaawo kya nkomeredde kuba tukyalina n’okuddamu okutuula enkya (Lwakubiri) tubeeko bye tutuukako,” Kabanda bwe yagambye.
Ye ng’omuntu, Kabanda yagambye nti awagira okukulaakulanya ekibangirizi kino, wadde nga waliwo abakisimbira ekkuuli n’ajuliza nti n’enkulaakulana endala ezizze zituukibwako era zizze zibeerako okuwakanyizibwa okuli n’ekya Ham okuzimba ku mwala gw’e Nakivubo .
Yagambye nti yawandiikidde Bulwadda amulage pulaani gy'alina ku kifo kino ng’eraga engeri gy'agenda okukuumamu obutonde bw’ensi, kyokka tannamuddamu.
“Singa pulaani ya Hajji Bulwadda eneeba eraga engeri y’okutaasa obutonde bw’ensi, sirina buzibu na kumukkiriza kussaawo nkulaakulana gy'ayagala,” Kabanda bw’agamba.
Ensonda endala mu kakiiko zaategeezezza nti abakulu abasinga mu kakiiko ekirowoozo bakkiriziganyizza nakyo bakulaakulanye ekifo nga kye basigalizza kwe kukakasa ng'enkulaakulana tekosa butonde bwa nsi n’okulaba ng’abantu ba bulijjo babateerako we basobola okuwummulira ekitali kya kusasulira.
EBIRI MU PULAANI YA BULWADDA
Okusinziira ku pulaani ya Hajji Bulwadda, Bukedde gye yalabyeko, agenda kuzimba ebizimbe bibiri obwaguuga ng’ekimu kiri mu kibangirizi ekiriraanye kkooti ey'oku ntikko era kijja kubaako amaduuka 1,000 n’ebisinge bya wooteeri 250.
Mu maaso g’ekizimbe wagenda kubaawo omuddo n'emiti era ng’abantu bakkirizibwa okutuulawo ku bwereere ne beekubisizaawo n'ebifaananyi nga bwe balaba n’amazzi agayimba.
Ekizimbe ekirala kyakubeera mu kibangirizi ky’ekyemmanga okuliraana Kampala Road nga kyakubeerako amaduuka 2,500 nga kuliko kaabuyonjo ez’obwereere, WiFI eteri ya kusasulira, bbanka, ebifo abantu we bawummulira, ng’abavubuka baakuweebwa enkizo mu kufuna amaduuka. Kugenda kubeerako ekifo ky’obulambuzi ekya minisitule abantu we banaayoleseza ebintu eby’enjawulo. Ku bizimbe waggulu kujja kubeerako omuddo era ng’amasannyalaze g’amaanyi g’enjuba tegavaako.
ABAWAKANYA ENKULAAKULANA NABO TEBATUDDE
Loodi Meeya, Ronald Balimwezo yagambye nti ye n’olukiiko lw'akulembera bawakanyiza ddala enteekateeka eno kuba kino kye kimu ku bifo ebitono ebiwummulirwamu ebikyasigadde mu kibuga.
“Kino si kye basoose okutunda, essomero lya Nakivubo Settlement baalitunda. Weewuunya kuba ettaka lyonna balimazeewo,” Balimwezo bwe yagambye.
Yagambye nti bajja kukozesa amakubo gonna agali mu mateeka okuwakanya enteekateeka eno. Ekirala ekimwewuunyisa kwe kuba ng’abavunaanyizibwa ku kibuga aba KCCA tebannabeebuuzaako wadde nga be bavunaanyizibwa ku kifo kino. Kyokka dayirekita wa KCCA, yategeezezza nti, abakulira ebyekikugu ne bannabyabufuzi mu KCCA baakuweebwa omukisa okuwaayo ebirowoozo byabwe mu kakiiko nga tekannakola lipooti ya nkomeredde.
Akulira oludda oluvuganya, Joel Ssenyonyi bwe yabadde mu Palamenti gye buvuddeko, yagisabye eyingire mu nsonga ya Consititutional Square kuba bulijjo ebadde yeebuuzibwako n’etaasa embeera.
KAWEEFUBE W’OKUKULAAKULANYA EKIFO
Mu gy’a 2000 olukiiko lwa KCC olwali lukulemberwa meeya John Sebaana Kizito lwayisaako ekiteeso ky’okukulaakulanya Constitional Square era nnaggagga Hassan Basajjabalaba ne bamuwaako liizi.
Mu 2021, KCC yawa kkampuni ya Basajjabalaba eya HABA Group liizi era n’asasula akawumbi kamu n’obukadde 600. Enteekateeka yali ya kusooka na myaka etaano okuva mu 2002 kyokka nga baali basobola okugyongerayo emyaka emirala 49.