POLIISI ekoze ekikwekweto ku makubo gonna agayingira Kampala oluvannyuma lw’okutegeezebwako nga bwe waliwo mmotoka etambuza ente enzibe.
Ekikwekweto kino kyakulembeddwaamu poliisi y’e Katwe ng’eduumirwa SSP Julius Isabirye, n’ekola omuyiggo oluvannyuma lw’okutegeezebwa nti obubbi bw’ente bususse ate nga be bazibbako bamu ku baaweebwa ssente za PDM ekitaataaganyizza enkola za Gavumenti.
Mu kikwekweto kino, poliisi yakutte omusajja n’ente enzungu 2 ekika kya Heifer enzibe nga zipakiddwa mu mmotoka ekika kya Harrier nnamba UAM 175K. Kigambibwa nti ente zino zabbiddwa mu zooni ya Mirimu e Ndejje mu Makindye Ssaabagabo.
Poliisi yasanze abasajja bana nga batikkula ente zino okuva mu mmotoka era olwalabye poliisi abasatu ne badduka omu eyategeerekeseeko erya Kakumba Amos ow’e Matugga ne bamunyweza.
Kakumba yabuulidde abeebyokwerinda ebbanga lye bamaze mu bunyazi bw’ente n’ategeeza nti bazibba mu bitundu eby’enjawulo okuli; Hoima, Ssemuto ne bazitunda mu bitundu by’e Ndejje.
Wabula waabaddewo ddukadduka nga poliisi ezzaayo Kakumba ku lw’e Salaama gye baabadde bazitwala. Bwe baatuuse mu maka g’omusajja azigula, baasanze yadduse nga waliwo mukyalawe era n’akwatibwa.
Kakumba yategeezezza poliisi entembuza y’emirimu n’agamba nti bwe bamala okufuna omunyago, nga banne bamuwaako obusente butono nga bamugamba nti omulimu gwe yakoze gusaana ssente ezo.Yabuulidde poliisi nti baakabba ente ezisoba mu 5 nga baziguza omusajja ono.
Amyuka omwogezi wa poliisi mu Kampala n’emiriraano, Luke Owoyesigire yakakasizza okukwatibwa kwa Kasumba n’ategeeza nti bali ku muyiggo okukwata abasatu abadduse n’okwongera okuzuula abalala abali mu gw’obubbi bw’ente