OMUVUBUKA eyabulankanya liita z'amata 7,826 gumusse mu vvi kkooti n'emukaliga yeebake e Luzira emyezi 18 abalala abagenderedde okukikola bamuyigireko.
Okusinziira ku bujulizi obwamulumye, ono yali akola gwa maneja ku kkampuni eno kyokka yagifiiriza liita z’amata 7,816 ezibalirirwamu obukadde 8 n’ekitundu nga byaliwo wakati wa July ne August 2023.
Omubalirizi w’ebitabo mu kitongole kino, Benjamin Ogema, bwe yali amuwaako obujulizi yategeeza omulamuzi Adams Byarugaba nti, Tumukunde yali yaweebwa obuvunaanyizibwa bw’okukung’aanya amata mu balunzi e Kyankwazi nga bw’agaweereza e Kampala wabula yafuuka nnamunswa alya ku nswa ze n’atandika okwetoolerako nga bakama be tebamanyi.
Kyazuulibwa nti n’amafuta ge baamuwanga okusaabaza amata nago yeegyirangako agage nga ku lunaku lwe yakwatibwa yali yaakabba agabalirirwamu akakadde kamu n’emitwalo abali.
Mu kwewozaako, Tumukunde yategeeza omulamuzi nti baali bamusibako matu ga mbuzi kumuliisa ngo n’agamba nti bakama be bazibu nnyo, yali ababanja omusaala kyokka olwajjako e Kampala baamukwata awatali nsonga n'ekigendererwa ky'okwewonya ensimbi ze yali abanja.
Nga tannaweebwa kibonerezo, yasabye okusonyibwa kyokka omulamuzi n'amutegeeza nga bw'ataabadde mwetowaze ng'omusango gugenda mu maaso nga n'olumu yayimbulwako ku kakalu ka kkooti n'abula era yanoonyezebwa okuddamu okuvunaabibwa.
Omulamuzi Byarugaba bwe yabadde amusalira yagambye nti, abavubuka ensangi zino basussizza okumenya endagaano z'abakozesa ne bababba era ebikolwa nga bino bisaana okubonerezebwako.
Yamusindise mu kkomera e Luzira akulunguleyo emyezi 18 nti era w’aliviirayo aliba ategedde ng’omulimu agutwala nga eky’omuwendo, kyokka nti ne bw'aliba avuddeyo, waakusasula obukadde 11 eri abo be yakumpanya obutasukka myezi mukaaga nga yaakafuluma ekkomera.