Amawulire

Poliisi ekutte abantu 4 ku by'okubba ente 3 n'okuzitambuza

Abantu bana abagambibwa okuba mu lukwe lw'okubba ente ssatu n'okuzitambuza, bakwatiddwa poliisi e Katwe.

Poliisi ekutte abantu 4 ku by'okubba ente 3 n'okuzitambuza
By: Godfrey Kigobero, Journalist @New Vision

Abantu bana abagambibwa okuba mu lukwe lw'okubba ente ssatu n'okuzitambuza, bakwatiddwa poliisi e Katwe.

Babakwatidde Kibutika zzooni e Ndejje mu Ssaabagabo Makindye mu munisipaali y’e Wakiso.

Mmotoka omwabadde ente

Mmotoka omwabadde ente

Omu gwe basoose okukwata, ategeezezza nga bwe yabadde aziguze obukadde nga buna n'ekitundu kyokka ng'atamattama kwe kumukwata ne banne bwe babadde mu ddiiru.

Amyuka omwogezi wa poliisi mu Kampala, Luke Owoyesigyire, agambye nti okubuuliriza kugenda mu maaso okuzuula bannyini zo.

Tags:
Bantu
Kukwatibwa
Basatu
Nte
nte