Omusajja agambibwa okutema mukyala we embazzi n'amutta olw'okumukanda ssente ez’okubalabirira abaana, poliisi emukutte.
Omugenzi atumye abaana be babiri ku dduuka n'asigala n'abato ababiri awaka nti kyokka bagenze okudda ne bamusanga nga bamuttidde mu kakubo akadda ewaabwe.
Poliisi etutte embwa n'esibira awaka gye bazudde embazzi ebadde ebunye omusaayi era ne bakwata bba abitebye.
Kigambibwa nti baludde nga balina obutakkaanya awaka nga buva ku mukyala kukanda mwami ssente olutatadde ez'okubalabira abaana n’awaka nga wandiba nga we wavudde entabwe ng'omwogezi wa poliisi e Mbale Rogers Taitika bw'annyonnyola.