Bya Joseph Innocent Ssenfuma
Akakiiko ka Uganda akavunaanyizibwa ku ddembe ly'obuntu (UHRC) nga kakola omulimu gwakyo ogulambikibwa mu ssemateeka akawayiro (Article ) 52(1)(a) okukebera ebifo abantu mwe basibibwa, kafundikidde okulambula n' okukebera amakomera mu Bugwanjuba ne mu masekkati ga Uganda -e Ndorwa Kabale, Mbarara ne Masaka.

Ab'akakiiko k'eddembe ly'obuntu nga bakyaddeko mu kkomera
Hon. Shifrah Lukwago mukwogera kwe eri abasibe yakubirizza okubeera n'empisa, okuwulira abaserikale, n'okwegatta n'okujjumbira mu kusomesebwa kwokubateekateeka okudda mu bantu.

Ab'akakiiko k'eddembe ly'obuntu nga balambula amakomera
Yabagambye nti "Empisa ennungi ye yunifoomu yo esookala ddala nga tonnaba kwambala yunifoomu y'ekkomera era basanidde okujjambala buli lunaku.
Yayongeddeko nti Oluggi lw'ekkomera lujja kugulwawo olunaku lumu ofulume ekkomera naye empisa zezijja okukuziyiza okudda munda. Bw'oba osobola okuwulira amateeka muno mukomera era oba osobola okuwulira n'okugondera amateeka ebweru n'olwekyo kozesa ekiseera kino okwetereeza, so si kuyiga mizze mibi mirala ate.
Abakutiide nti bakitwale nti ekifo kino kibeere kya kubabangula, si yunivasite y'obumenyi bw'amateeka.
Weekuume leero, society ekwesige enkya.