Amawulire

Ssemaka agambibwa okutema mukyala we embazzi n'amutta olw'okumukanda ssente z’okubalabirira abaana akwatiddwa

Bibadde ku kyalo Lugoba mu ggombolola y'e Nabiwutulu e Bulambuli , Henry Kaduwa 65 gy'agambibwa okutta Sylvia Mulelengo 52 .

Ssemaka agambibwa okutema mukyala we embazzi n'amutta olw'okumukanda ssente z’okubalabirira abaana akwatiddwa
By: Godfrey Kigobero, Journalist @New Vision

Omusajja agambibwa okutema mukyala we embazzi n'amutta olw'okumukanda ssente ez’okubalabirira abaana, poliisi emukutte.

Bibadde ku kyalo Lugoba mu ggombolola y'e Nabiwutulu e Bulambuli , Henry Kaduwa 65 gy'agambibwa okutta Sylvia Mulelengo 52 .

Omugenzi atumye abaana be babiri ku dduuka n'asigala n'abato ababiri awaka nti kyokka bagenze okudda ne bamusanga nga bamuttidde mu kakubo akadda ewaabwe.

Poliisi etutte embwa n'esibira awaka gye bazudde embazzi ebadde ebunye omusaayi  era ne bakwata bba abitebye.

Kigambibwa nti baludde nga balina obutakkaanya awaka nga buva ku mukyala kukanda mwami ssente olutatadde ez'okubalabira abaana n’awaka nga wandiba nga we wavudde entabwe ng'omwogezi wa poliisi e Mbale Rogers Taitika bw'annyonnyola.

Tags:
Baana
Kutta
Ssente
Kutema
Mukyala