OMU ku mikwano enfa nfe b’omugagga James Garuga eyafa omwaka oguwedde asimbiddwa mu kkooti n’avunaanibwa emisango gy’okubba ettaka ly’omugenzi. Garuga yafa nga August 6, 2025 n’aleka ebyobugagga okwetooloola eggwanga. Kyokka mu
kiseera kino, ffamire eri mu ntalo ng’abamu balowooza nti wlaiwo abaagala okwekomya emmaali yomugenzi.
Embiranye ey’amaanyi eri wakati wa nnamwandu Peace Kesiime Musinguzi, ne mutabani w’omugenzi, Alwyn Carl Garuga Musinguzi.
Omu ku mikwano gye, Charles Byaruhanga 65, omutuuze we Masajja yasimbiddwa mu kkooti ya Buganda Road mu maaso g’omulamuzi Ritah Neumbe Kidasa n’avunaanibwa emisango munaana okuli n’okwekobaana okubba ettaka ly’omugenzi eriwerako yiika 849 nga lisangibwa Ngoma mu disitulikiti ye Nakaseke mu ssaza lye Bulemeezi.
Avunaanibwa n’abantu abalala okuli; Henry Hapa Nganwa 74, owe Ntebe-Kakeeka ne munnamateeka Agaba Magulu 66, abakyaliira ku nsiko.
Era baamulumirizza okwezza ettaka ly’omugenzi erisangibwa e Masajja lyakozesa. Byaruhanga ng’ayita mu bannamateekabe yasabye okweyimirirwa era n’aleeta abantu bataano okumweyimirira okwabadde mukyalawe, Sarah Nakiridde Winne, Elaine Okupa, Emmanuel Mugisha, Dr. Peace Musinguzi ne Robert Musinguzi.
Bannamateeka ba Byaruhanga baategezezza kkooti ng’omuntu waabwe bw’alina obulwadde abaamakomera bwe batasobola, kyokka oludda oluwaabi nga lukulembeddwamu Joan Keko lwawakanyizza okusaba kuno nga bagamba nti alina emisango emirala era nga bamwekengera okutaataaganya okunoonyereza singa abeera ayimbuddwa.
Omulamuzi yakkirizza okusaba kw’okweyimirira kwa Byaruhanga n’amulagira okusasula obukadde busatu ezoobuliwo ate abaamweyimiridde ne balagirwa okusasula obukadde 50 ezitali zaabuliwo.
Byaruhanga yalagiddwa okudda mu kkooti nga November 4, 2026 ate abavunaanibwa abalala ababiri ne babayisaako ekibaluwa ki bakuntumye.
EBYOBUGAGGA BYA GARUGA
Garuga yaleka eby’obugagga ebiri eyo mu buwumbi 1,000 nga kuliko amaka e Mbuya ku Plot M63, galiko ennyumba eya kalina ey’emyaliiro esatu, Amakag’omukyalo agasangibwa e Rugyeyo, gatudde ku yiika 20 ebalirirwamu obuwumbi abiri.
Ebirala kuliko amayumba e Mbuya ku Plot 2, Sserunkuuma Road, Kkampuni ya Garuga Properties Ltd, omugenzi gyasinzaamu emigambo. Kkampuni eno erina ebyapa 152 ku Block 454 ne 452 e Garuga, nga biwezaako yiika 210, nga buli yiika ebalirirwamu emitwalo 20 egya ddoola.
Waliwo ne kkampuni ya Kigezi Highland Tea Ltd. Kkampuni eno erina fakitole nnya e Kabale, Rukungiri ne Kisoro, kw’ossa ettaka eribalirirwamu obuwumbi 100. Ye yali nnannyini Kkampuni ya Kinkizi Development Co. Ltd, erimu fakitole z’amajaani n’ettaka nga awamu bibalirirwamu obuwumbiobusoba mu 20. Kkampuni endala eya Kamwenge Community Development Project Ltd, kkampuni ya Savanna Resort Hotel Ltd, esangibwa e Ntebe etudde ku yiika 35, eriko ekisaawe kya Golf n’ekyenyonyi, ate nga kkampuni eno era erina n’ettaka e Kanungu, ng’ebyobugagga byayo bibalirirwamu
obuwumbi 40.
Waliwo kkampuni ya Incafex Ltd, era Garuga nga yasinzaamu emigabo, erina mayiro 30
ez’ettaka mu bitundu bya Uganda eby’enjawulo. Ku kizinga e Koome, mu disitulikiti y’e Mukono, Garuga alinayo mayiro ssatu ez’ettaka ezijjudde emiti gya Pine, nga bwogatta ettaka n’emiti bibalirirwamu obuwumbi 50.
Yalina emigabo egisinga obungi mu leediyo ya Kanungu Broadcasting Services Ltd esangibwa ku KBS Plaza, nga byonna bibalirirwamu obuwumbi 10 eza Uganda.
E Kanungu, waliyo sikweya mayiro z’ettaka bbiri okuli ebibira by’emiti gya Pine, ne ffaamu esangibwa ku kyalo Matanda, naye namwandu tazoogerako mu by’obugagga bye yawa kkooti.
Era Musinguzi yalina amalundiro g’ebisolo ag’amaanyi nga gatudde ku sikweya mayiro z’ettaka eziwerako, kyokka nazo tezaayanjuddwa mu kkooti. Kuno gattako amayumba g’abapangisa agasangibwa e Kyambogo, nga gabalirirwamu obuwumbi bubiri.
Ku by’obugagga bino, kw’ossa ssente enkalu ezibalirirwamu obuwumbi butaano, ezaali zigenda okumujjanjaba e Bungereza, kyokka nazo mulekwa agamba nti namwandu tazoogerako. Ebirala kuliko ettaka erisangibwa ku plot 17ne 11, Hanron Road, ne Kololo Cresecent, ne Block 13, Plot 1163 e Najjanankumbi nga bibalirirwamu obuwumbi 10.