Amawulire

Abantu bateekedde omuliro omuvubuka gwe bateeberezza okubba amafuta n'asirikka!!

Wabaddewo akasattiro, abantu bwe bakumye omuliro ku muvubuka ow'emyaka 25 ne bamwokera okumpi n'essundiro ly'amafuta n'ebimotoka ebigatambuza e Jinja.

Abantu bateekedde omuliro omuvubuka gwe bateeberezza okubba amafuta n'asirikka!!
By: Godfrey Kigobero, Journalist @New Vision

Wabaddewo akasattiro, abantu bwe bakumye omuliro ku muvubuka ow'emyaka 25 ne bamwokera okumpi n'essundiro ly'amafuta n'ebimotoka ebigatambuza e Jinja.

 

Mu ngeri y'emu ne pikipiki kw'abadde atambulira nnamba UEN 107H, nayo bagiteekedde omuliro nga bamulumiriza okugezaako okubba amafuta.

 

Bibadde mu Muguluka East e Magamaga e Jinja, abantu bwe bafumbiikirizza Rashid Musene 25, nga bamulumiriza okugezaako okunuuna amafuta mu kimu ku bimotoka ebigatambuza ku ssaawa nga 7:00 nga bukya.

 

Omwogezi wa poliisi mu ggwanga, Kituuma Rusoke, avumiridde ekikolwa eky'okutwalira amateeka mu ngalo ne batta omuntu ate n'okukuma omuliro okumpi n'essundiro wamu n'ebimotoka ebigatambuza ky’agambye nti kya bulabe.

 

Agasseeko nti ssinga omuliro gwakutte essundiro oba ebimotoka, nabwo bwandibadde  bulabe bwa maanyi eri obulamu bw'abantu n'ebitundu ebiriraanyeewo.

 

Asabye abantu okukomya okukama amafuta okuva mu mmotoka nti nga n'abamu bakikolera mu jjaamu mu nguudo ez’enjawulo.

Tags:
Mafuta
Jinja
Bimotoka