AKULIRA Kkampuni y'a Vision Group Don Innocent Wanyama akooneddemu Bruno Betty olw'obuyiiya n'akunga abantu okumuwagira mu kivvulu kye kyeyatuumye "Ekituufu Mwagala ki ?
Don Wanyama,bw'abadde asisinkanye Bruno Betty mu wofiisi ye bw'abadde agenze okumwanjulira entekateeka z'ekivvulu kye kyeyatuumye Ekituufu mwagala Ki ?
Wanyama asoose kumwebaza olw'obuyiiya bw'akozesa ng'ayolese ekitone kye okusanyusa abantu ekimufudde omuganzi ku Mpewo za Bukedde TV ne Radio.
Ono agambye nti nga Vision Group benyumiriza nnyo mu Bruno Betty olw'obukozi bwe ng'ate yerwanyeko okukuza ekitone kye n'akunga abantu okugenda mu bungi mu Theatre Labonita nga ennaku z'omwezi 24 na 25 omwezi guno bawagire Bruno Betty.
Don agambye nti Bannabitone bantu bankizo nnyo mu Nsi olw'ensonga nti ababa basomesa n'ategeeza nti abantu singa bagya mu bungi mu kivvulu kya Bruno Betty ne baanukula ekibuuzo ky'abuuza mu muzannyo gwe nti ekituufu mwagala ki ebintu bingi ebisumbuwa abantu bigya kunogerwa eddagala Ensi egende mu maaso.
Bruno Betty agambye nti entekateeka zonna zitambula bulungi ng'okuyingira mu kivvulu kye eky'ennaku ebbiri okuyingira Shs 50,000,Shs 100,000 n'Emmeeza Shs 1,000,000 n'asabantu abantu okujja mu bungi okumusangula amaziga.
Ye akulira Olupapula lwa Bukedde Micheal Mukasa Ssebbowa akunze abantu okugya okuwagira Bruno Betty gw'agambye nti y'ensibuko y'ebisanyusa.
Ssuuna Ben ow'Ebinyanyanya akunze abantu okugya mu bungi okuwagira Bruno Betty n'asuubiza nti naye ne Ttiimu yonna bagya kubaayo okumubugiriza.