POLIISI ekoze ekikwekweto ku bagambibwa okuba abamenyi b'amateeka , n'ekwata abawera 89 e Mukono, Wakiso ne Kampala.
E Nakigalala , Kifene, Makandwa , Kitovu e Kajjansi ku luguudo lw'e Ntebe, poliisi eyodde 24 so ng'ate e Zirannumbu mu munisipaali y’e Makindye Ssaabagabo, poliisi e Katwe akutte 4 n'ebigambibwa okuba ebisosonkole by'amasasi 14 n'ebyambalo ebyafaananyiriza eby'amagye.
Mu Lunnyo e Ntebe, bakutte 61 ng'amyuka omwogezi wa poliisi mu Kampala Luke Owoyesigyire, bwe yannyonnyodde.