Akaboozi katabudde abafumbo ne batuuka okwerangira obulogo.
Hilary Lubyayi ne kabiitewe Caroline Itungo nga bano batuuze ku kyalo Lwagule mu gombolola ye Kisekka mu disitulikiti ye Lwengo berangidde mu lukiiko ne bawunikiriza RDC abadde agenze okubatabaganya.

Carolyn Itungo alumirizza bba obulogo n'okuganza abakozi b'awaka
Ono ayongeddeko nga kabiitewe bweyaleeta ebyokoola awaka ebibatigomya ekyamuwaliriza okunoba.
Ono era ategeezezza nga mukyala we bweyatuuka n'okumuma akaboozi nga buli lwamugambako amukuba mugongo n'ekyadiridde kwabadde kunoba.

RDC Kasekende ng'aliiko amagezi gaawa abafumbo bano
Lubyayi agambye nti wadde nga guli gutyo ye mukyalawe akyamwagala nti kuba bakuba ebirayiro mu klezia mu mwaka gwa 2016 era nga byakyagenderako naasaba kabitewe okwekuba mu kifuba.
Amyuka Rdc we Lwengo Fred Kasekende avumiridde eky'abafumbo okwesigama ku bikolwa ebyakalogo kalenzi nga balowooza nti byebikuuma n'kuwangaza obufumbo.