ABAYIZI 8 aba siniya eyokuna, abagambibwa okugezaako okukuma mu bannaabwe omuliro beekalakaase , poliisi e bakutte.
Abayizi bano, ba ssomero lya Kigezi High School e Kabale nga kigambibwa nti babadde bagezaako okwekalakaasa mu kiseera kino nga bali mu kokola bigezo .
Kitegeezeddwa nti abamu ku bakwatiddwa, bebamu ku bayizi 11 abaali bawummuzibwa ku Monday, bwe baakwatibwa nga bagezaako okutoloka era ne babalagira okudda ewaabwe.