EKITONGOLE ekirwanyisa obubbi bw’ettaka ekiri wansi w’amaka gw’obwa Pulezidenti ekya Presidential Task Force on Land Matters and Environment ekikulirwa Brig. Gen. Moses Lukyamuzi kikutte omusajja agambibwa okutigomya abatuuze b’e Mukoto ku ttaka era kati atemeza babega wa mitayimbwa.
Akwatiddwa ye Noordin Ssewanyana ng’ono amaze ebbanga ng’anonyezebwa ekitongole kino oluvannyuma lw’abantu ab’enjawulo okumwemulugunyaako okumala ebbanga nti asusse okubatulugunya ku ttaka lyabwe.

Brig. Gen. Lukyamuzi (ku ddyo) ng'annyonnyolwa ku nsonga za ffamire egambibwa okutigomezebwa Noordin Ssewanyana
Ono okukwatibwa, kiddiridde abaana b’omugenzi Muhamood Kivumbi okuddukira ewa Gen. Lukyamuzi nga balumiriza Ssewanyana okubalumba ku kibanja kyabwe ekiweza yiika 15 n’asenda ebirime byabwe mu ngeri emenya amateeka era n’ayonoona ebintu eby’enjawulo okuli emmwaanyi, ebitooke muwogo n’ebirala.
Bano batuuze kyalo Busaabala mu muluka gwe Bamusuuta mu ttawuni kkanso ye Naggalama nga bamaze ebbanga nga bayita mu kunyigirizibwa olw’omusajja ono.
Aisha Nabuyungo nga y’omu ku baana b’mugenzi Kivumbi agambye nti Kitaabwe bweyafa, yabalekera ekibanja ekyo kwebatudde kyokka Ssengabwe wamu ne taata waabwe omuto, baabalumbagana ku Kibanja kyabwe nga yeekobaanye ne Ssewanyana nga baagala okubagobawo kyokka nga bo omugabo gwabwe baali baagufuna dda.

Abamu ku ba ffamire y'omugenzi Kivumbi nga bannyonnyola ku bugubu bweyaitamu ku kibanja kyabwe
Ate Nubuat Nabawanuka yeekokkodde obukambwe bwa Ssewanyana bw’ategeezezza nti ono yaleeta ekibinja kya ba kifeesi ku kibanja kyabwe nga batulugunya buli abeerako okuli ne nnyabwe ow’emyaka 75 nga tewali wadde abakuba ku mukono.
Ayubu Kimbowa nga yoomu ku baasenderwa ebintu bye naddala emmwaanyi, agambye nti ensonga bazitutte ku poliisi naddala eye Naggalama wamu n’ewa RDC we Mukono kyokka nga tebayambibwa kwekusalawo okuddukira ewa Gen. Lukyamuza abayambe.
Wabula mu kwewozaako, Noordin Ssewanyana agambye nti waliwo aba ffamire y’omugenzi Kivumbi abaamutuukirira nebamutegeeza nti batunda ekibanja kyabwe naye kwekukigula nga tamanyi nti kiriko enkaanyana.
Akakasizza nti oluvannyuma lw’enkaayana zino, ekibanja yakivaako kati ebbanga lya mwaka mulamba ng’alinze aba ffamire bakkaanye kale ng’abaamuleese ewa Gen. Lukyamuzi bamulanga bwemage.

Abamu ku ba ffamire erumiriza Noordin Ssewanyana (atudde wansi) okubatulugunya ku ttaka nga bali mu ofiisi ya Gen. Lukyamuzi
Ku nsonga eno, Brig. Gen. Lukyamuzi agambye nti bamaze ebbanga nga balimiisa omusajja ono olw’okwemulugunya bw’abatuuze ab’enjawulo okuva e Mukono nti abafuukidde ekizibu ku ttaka okutuusa lwebaamukutte.
Agambye nti okumunoonyerezaako kugenda kweyongerayo n’akakasa nti bwekunaggwa, ajja kutwalibwa mu mbuga z’amateeka avunaanibwe