Amawulire

Hadijah Namyalo asoomoozezza ab'ekitongole ky'amasannyalaze ekya UEDCL

Hajjat Hadijah  Namyalo akulira ofiisi ya Ssentebe wa NRM (ONC), ayagala kampuni y’amasannyalaze eya Uganda Electricity Distribution Company Limited (UEDCL) okulongoosa empeereza yaayo n’okumalawo ebizibu bw’amasannyalaze ekibadde biviirako Bannayuganda okwemulugunya.

Hadijah Namyalo ng'ayogera
By: Bukedde Omusunsuzi, Journalist @NewVision

Hajjat Hadijah  Namyalo akulira ofiisi ya Ssentebe wa NRM (ONC), ayagala kampuni y’amasannyalaze eya Uganda Electricity Distribution Company Limited (UEDCL) okulongoosa empeereza yaayo n’okumalawo ebizibu bw’amasannyalaze ekibadde biviirako Bannayuganda okwemulugunya.

Namyalo agamba nti gavumenti erina okukola kyonna ekisoboka okulaba ng’abantu bafuna amasannyalaze ag’obwesigwa, kubanga geetaagibwa mu maka, mu bizinensi, mu makolero ,mu malwaliiro ne mu mirimu emirala egivaamu ensimbi.

Okwogera kwe kuzze mu kiseera ng’abantu bangi beemulugunya ku kusalako kw’amasannyalaze, ekintu ekikosa emirimu gyabwe.Namyalo asabye UEDCL okufaayo ku bantu abakozesa amasannyalaze n’okwongera okutegeeza abantu ku nsonga eziviirako amasannyalaze okusalwako, wamu n’ebiseera eby’okugakomyawo.

Ategeezezza nti abantu bangi bakyebuuza ku mbeera y’amasannyalaze, nga n’abamu balaba ng’okusalako kwago kweyongera okubaawo. Ono asabye kampuni eno okuteeka essira ku kugonjoola ebizibu bino n’okulaba ng’empeereza etuuka ku bantu mu ngeri ey’obwesigwa.Nga ensonga yamasannyalaze okuvako kivumangaya nyo gavument ya NRM singa tewabawo kikolebwa mu bwangu.

Ono asabye omukulembeze we ggwanga okusitukiramu bunabiiro yekenenye ,era ayogedde nekumiwendo banauganda gyebasasula kiruna amasanyalaze okubera wagulu,kyoka nga ensi endala ezigafunako zeyagala olwokusasula emiwendo emitono.

Agamba nti amasannyalaze malungi geetaagibwa mu kutumbula ebyenfuna by’eggwanga, kubanga gayamba abasuubuzi, abakola emirimu egy’enjawulo n’amaka okutambuza obulamu bwabwe obwa bulijjo.
agambye nti okulongoosa empeereza y’amasannyalaze kijja kuyamba okwongera ku nkulaakulana y’eggwanga n’okulaba ng’abantu bafuna obuweereza obubagwanira.

Tags: