Poliisi y'ebidduka etaddewo ennamba z'amasimu eri abo abalina okwemulugunya ku pipapula { EPS} ebyabakubibwa ku mmotoka zaabwe.
Alabudde abantu abagula mmotoka nga kuliko ebipapula bino, nti si baakubasonyiwa era balina okusooka okwetegereza nga tebannazisasula.
Mu ngeri y'emu era Kananura, ategeezezza nti ebikwekweto bikawunyemu bikyagenda mu maaso nga mu wiiki bbiri, bakutte baddereeva 216.
Ayongeddeko nti n'ebikwekweto ebirala bikolebwa okulwanyisa obubenje ku nguudo