Amawulire

Abantu 3 abagambibwa okubba obutimba gavumenti bwe yawadde ab'e Kassanda bakwatiddwa poliisi !

Asia Najjuma, omusawo w'oku kyalo, Ronald Kyaka, ssentebe wa LC1 e Kyanamugera ne Herbert Ssaazi omusawo w'ekyalo, be bakwatiddwa ku by'okubba obutimba.

Abantu 3 abagambibwa okubba obutimba gavumenti bwe yawadde ab'e Kassanda bakwatiddwa poliisi !
By: Godfrey Kigobero, Journalist @New Vision

ABANTU basatu abagambibwa okwenyigira mu kubba obutimba bw'ensiri obwabadde obw’okugabibwa e Kassanda, poliisi ebakutte.

 

Asia Najjuma, omusawo w'oku kyalo, Ronald Kyaka, ssentebe wa LC1 e Kyanamugera ne Herbert Ssaazi omusawo w'ekyalo, be bakwatiddwa ku by'okubba obutimba.

 

Kigambibwa nti baabasanze n'endibota bbiri ez'obutimba era nga mu kiseera kino, bakuumirwa ku poliisi y'e Kakungube ng'okunoonyereza kugenda mu maaso.

 

Omwogezi wa poliisi mu Wamala, Lameck Kigozi, agambye nti omusango gwaloopeddwa Rashid Nsibuka 40, ow’omuluka gw'e Kyannamugera mu ggombolola y'e Nalutuntu  e Kassanda era nga baakutwalibwa mu kkooti.

Tags:
Amawulire
Kukwata
Butimba
Nsiri
Gavumenti
Kassanda