OMUNTU omu agambibwa okuba mu kibinja ky'ababbisa emmundu n'ebiso, akwatiddwa poliisi n'emmundu bbiri ne zizuulibwa e Mityana.

Ebimu ku bissi bye baamusanze nabyo
Baalumbye amaka ga Ibrahim Ssande ne batiisa okubatta nga babakanda ssente, era okukkakkana nga bamuggyeeko emitwalo 90 n'amasimu. Baagenze ewa Specioza Namulera 53, ne banyaga emitwalo 70 n'amasimu.
Baalese babasibye emiguwa ne babulawo ku pikipiki nga boolekedde e Butayunja era wano abaserikale ba poliisi okuva e Kitongo abaabadde ku paatulo e Nawangiri mu muluka gw'e Ngandwe e Butayunja nga bakulemberwa Sgt Robert Opio ne babasalako.

Omusajja eyakwatiddwa.
Mu nsiitaano y'okubakwata, abasatu badduse, ne banywezaako omu ne pikipiki wamu n'omugugu omwabadde emmundu bbiri n'ebiso era ng'eyakwatiddwa Abbas Namusanga, akuumirwa ku poliisi e Mityana ng'okubuuliriza bwe kugenda mu maaso nga Lameck Kigozi omwogezi wa Wamala, bw'annyonnyola.