OMUVUZI wa bbooda eyakwatiddwa olw'okusangibwa ng’avuga atamidde asindikiddwa Luzira
Omuwaabi wa Gavumenti, Mercy Yamangusho Khaidara ategeezezza kkooti nti nga October 25, 2026, Kwarisingura mu budde bw'ekiro yakwatibwa bavuzi banne ababbooda bwe baamulaba ng’avuga atamidde ne bamutwala ku poliisi
Ono yali avuga bbooda nnamba UEM 906 Y emmyufu mu langi mu bitundu by'e Bukoto ng’atamidde nnyo ekisukkiridde
Yamangusho ategeezezza kkooti nti guno gwe mulundi ogusoose Kwarisingura okuzza omusango wabula alina okuweebwa ekibonerezo ekimusaanidde kubanga yali atadde obulamu bw’abo abakozesa ekkubo mu katyabaga ng’asaanidde okubonerezebwa abalala bamulabireko
Omulamuzi Aisu omusango agwongezzaayo okutuusa nga November 3, 20206 Kwarisingura lw’anaakomezebwawo mu kkooti okuweebwa ekibonerezo.