Amawulire

Omuchina eyabba ku munne obukadde 210 ng'amulimbye okuzizza mu ddoola asuze Luzira

Cheng Yi Wei 36, eyali yajja okulambula nga kati awangaalira mu bitundu by’e Matugga Ssanga mu disitulikiti y’e Wakiso y’asimbiddwa mu maaso g'omulamuzi wa kkooti ku Buganda Road Winnie Nankya Jatiko n’amusomera omusango gw'obubbi.

Omuchina eyabba ku munne obukadde 210 ng'amulimbye okuzizza mu ddoola asuze Luzira
By: Harriet Nakalema, Journalist @New Vision

MUNNANSI wa China agambibwa okubba obukadde 210 kkooti emuggalidde.

 

Cheng Yi Wei 36, eyali yajja okulambula nga kati awangaalira mu bitundu by’e Matugga Ssanga mu disitulikiti y’e Wakiso y’asimbiddwa mu maaso g'omulamuzi wa kkooti ku Buganda Road Winnie Nankya Jatiko n’amusomera omusango gw'obubbi.

 

Kigambibwa nti mu October nga 22 ne 23 , 2026 ku kizimbe kya King Fahad mu Kampala yabba obukadde 210 nga zaali za Gong Gheng Tao.

 

Cheng yamulimbalimba nga bwe yali asobola okumukyusiza ssente za Uganda mu ddoola ku bbeeyi eya wansi wabula yakizuula oluvannyuma nga bamaze okumubba.

 

Omusango Cheng yagwegaanye era ono yasindikiddwa mu kkomera e Luzira okutuusa nga November 11, 2026 lw’anaddizibwa mu kkooti okutandika okuwulira omusango guno.

 

Tags:
Amawulire
King Fahad