Amawulire

Abawala Abasudaani abasse owa sipeesulo nga bafunye obutakkaanya naye mu nsasula basuze Luzira

Abawala bannansi ba South Sudan 3 abagambibwa okupangisa owa Sipeeso ne bamwefuulira ne bamutta basimbiddwa mu kkooti ne bavunaanibwa ogw’obutemu.

Abawala Abasudaani abasse owa sipeesulo nga bafunye obutakkaanya naye mu nsasula basuze Luzira
By: Peter Ssuuna, Journalist @New Vision

Abawala bannansi ba South Sudan 3 abagambibwa okupangisa owa Sipeeso ne bamwefuulira ne bamutta basimbiddwa mu kkooti ne bavunaanibwa ogw’obutemu.

Abasudaani abavunaaniddwa nga batuuse mu kkooti

Abasudaani abavunaaniddwa nga batuuse mu kkooti

Aguru Tong, Deng Tong, Abudul Ram Sadang n’omuvubuka James Ayom, be basimbiddwa mu kkooti ya Mwanga II Mengo mu maaso g'akulira abalamuzi Doreen Ajuna abasomedde ogw'okutta Godeous Ampiire n’abasindika ku limanda e Luzira.

 

Bagaaniddwa okubaako kye boogera olw'okuba ogubasomeddwa gwa naggomola omulamuzi n'abategeeza nti guwulirwa kkooti nkulu yokka era bwe baba balina kye baagala gye baba bakiyisa.

Omugenzi gwe basse ng'ali ne ffamire ye

Omugenzi gwe basse ng'ali ne ffamire ye

Kigambibwa nti abana bano nga October 14, 2026 baapangisa Ampiire eyali omuvuzi wa sipeeso emmotoka Wish UBG 064R okuva ku siteegi ya Namayiba mu Kampala okubatwala e Lungujja mu Kikandwa kyokka oluvannyuma lw’okufuna obutakkaanya mu by’ensasula, baamwefuulira ne bamukuba ekyamuviirako okufa.

 

Kiteeberezebwa nti ng’abatuusizza ku nnyumba we banaasula mu kiro ekyo, baali bateesezza emitwalo esatu kyokka ne wabaawo okuwaanyisiganya ebigambo nga baagala kumuwa mitwalo ebiri gyokka kye yagaana.

 

Kigambibwa bano baava mu mbeera ne batandika okukuba Ampiire ensambaggere n'agakonde nga bamulumiriza okubabba eby'embi n'akosebwa ng’afunye ebiwundu eby’amaanyi.

Omugenzi Ampiire

Omugenzi Ampiire

Bwe yalaba bataamye, kwe kusalawo okudda mu mmotoka ye asimbule waakiri agende mu ddwaliro okufuna obujjanjabi bw'ebiwundu by'afunye eby'embi emmotoka n'emulemerera ng’abadduka abadduukirize baasanga ataawa.

 

Gye yatwaliddwa mu ddwaliro e Mmengo, gye baakabatemedde nti yassizza dda ogw'enkomerero era omulambo ne gutwalibwa mu ddwaliro e Mulago gye baaguggye okugutwala e Kanungu gye yaziikiddwa.

 

Omusango gwayongezeddwayo okutuusa nga November 12, 2026 lwe banadda guddemu okubasomerwa nga omuwaabi wa Gavumenti bw'akola okunoonyereza okusembayo basindikibwe mu kkooti enkulu okubitebya.

 

Nnamwandu w'omugenzi Audence Tumusiime yasabye Gavumenti okwongera okunyweza abantu bano mu mbeera y'okufuna obwenkanya eri bba eyamulekedde abaana ab'okulabirira nga talina ayamba.

Tags:
Amawulire
Abasudan
Abawala