AKULIRA ebyenjigiriza avunaaniddwa gwa kwezza ssente za gavumenti n’alimba nti yazikozesa mu kuggulawo ekizimbe ky’essomero.

Mwumvaneza ng'abaserikale bamuleese mu kkooti
Asimbiddwa mu maaso g’omulamuzi Esther Asiimwe n’amusomera nti wakati wa June 18 ne July 31 2025 e Kisoro yezza obukadde 8 n’emitwalo 25 mu enkumi bbiri ezaamuweebwa okuggulawo pulojekiti y’ebyenjigririza gye yali alinako obuyinza olwa ofiisi ye ng’akulira ebyenjigiriza mu distukiti eyo.
Era kigambibwa nti Mwumvaneza nga July 21, 2025 yateeka omukono mu kitabo ky’abagenyi ku ssomero lya Kebere Parimary school nti agguddewo ekizimbe ky’essomero eky’ebibiina bina ng’ate omukolo ogwo tegwaliyo.
Empaaba y’oludda oluwaabi emusomeddwa era egamba nti ono wakati wa June ne July 2025 e Kisoro ng’ali mu ofiisi ya gavumenti yakola ebikolwa ebikontana n’ebigendererewa bya bakama be bwe yalagira abakola ku bya ssente okumuwa ssente 8, 252, 000/= ng’akimanyi bulungi eby’okuggulawo ekizimbe tebiriiyo.
Emisango gyonna agyegaanyi n’asaba kkooti emukkirize ayimbulwe ku kakalu kubanga alina okugabira abakulira amasomero ebigezo bya P.7 ebigenda okukolebwa wiiki ejja.
Wadde omuwaabi wa gavumenti Maximum Erizooba abadde asabye omuwawaabirwa asindikibwe mu kkomera ng’okunonyereza bwe kugenda maaso, bannamateeka be bategeezezza omulamuzi nti ono alina okugaba ebigezo bya P.7 ng’ate bya wiiki ejja noolwekyo kikulu nnyo ayimbulwe.
Omulamuzi amuyimbudde ku kakalu ka bukadde 2 mu buliwo abamweyimridde basatu n’abassaako akakalu ka bukadde 200 buli omu n’amulagira okudda mu kkooti nga January 28, 2027.