Omukazi eyacanga abasajja era n'abategeeza nti baamufunyisizza olubuto asobeddwa ku ani omutuufu gw'aba awa omwana kubanga babiri bamukaayanira.

Nakanjako ng'atudde n'abakazi be abakaayanira abaana. Omwana, Tabbule (ku Kkono) Ne Matovu. Ekif; Saul Wokulira.
Nakanjako Florence 31 ow’e Kawongo y'agenze ewa Kafeero ng’ayagala ofiisi ye emuyambe afune ekika ekituufu gy'ateeka omwana.
Nakanjako abuulidde Kafeero nti asuubira nti Tabbule Charles 26, ye yamuwa olubuto era ye nnannyini mwana wabula n'eyali bba ebiseera ebyo Latif Matovu nga bonna bawangaalira ku mwalo e Kawongo mu Galiraaya agenda yeesoma nti ye taata w'omwana.

Collins Kafeero ng'atuuzizza Nakanjako Ne Basajja Be Ababiri. Ekif; Saul Wokulira
Kafeero ayise abasajja bombi era tubasanze ne mukazi waabwe Nakanjako ng’abatudde wakati buli omu n'anyumya ebyaliwo mu kiseera we yayagalanira ne Nakanjako.
Tabbule agambye nti okugwa mu mukwano n'omukazi ono kalibattanya yali akimanyi bulungi nti mukazi wa Matovu.
Matovu alumye ejjiiko nti kikafuuwe omwana wa Nakanjako si wuwe newankubadde abantu ab'oku kitundu babiyiwako nti ye taata w'omwana.
Nakanjako agamba nti yamala ennaku mbale ng’akyaye Matovu kwe kukubira Tabbule essimu eyali yamukwanako edda era bwe yamuyita ne Tabbule teyabandaala omukwano ne guloka era bw'abibala bimubuzabuza ku ani omutuufu eyamuwa olubuto.
Nakanjako mu kiseera kino yakwata eddya eppya n'omusajja omulala wabula omwana yali amusibye ku Tabbule nga amulabirira wabula olwa Matovu okugenda nga yesoma Tabbule obuyambi bw'omwana yabusalako sso nga ne Matovu ebbanga lyonna talina ky'awaayo ku mwana gw'ayita owuwe.
Kafeero alagidde abasajja bombi basonde ssente n'oluvannyuma omwana bamutwale bombi baggyibweko endagabutonde okuzuula taata w'omwana omutuufu.