Amawulire

Abadde yaakayimbulwa poliisi ezzeemu n'emukwata ku by'okubba nnamba puleeti n'akanda bannyini zo ssente

OMUVUBUKA eyaakava mu kkomera, poliisi ezzeemu okumukwata ku bigambibwa nti abadde anyaga nnamba puleeti okuva ku mmotoka, n'asaba bannyini zo ssente azibaddize.

Abadde yaakayimbulwa poliisi ezzeemu n'emukwata ku by'okubba nnamba puleeti n'akanda bannyini zo ssente
By: Godfrey Kigobero, Journalist @New Vision

OMUVUBUKA eyaakava mu kkomera, poliisi ezzeemu okumukwata ku bigambibwa nti abadde anyaga nnamba puleeti okuva ku mmotoka, n'asaba bannyini zo ssente azibaddize.

 

Martin Ssekyanzi 24 okukwatibwa, kiddiridde okubba nnamba puleeti okuva ku mmotoka y'omutuuze e Wabigalo Mityana n'alekawo akapapula okuli ennamba y'essimu kwe yabadde ayagala bamuteere ssente.

Ssekyanzi eyakwatiddwa.

Ssekyanzi eyakwatiddwa.

Ekitongole kya Flying Squad kyasitukiddemu ne bamulondoola ne bamukwata era nga mu kiseera kino akuumirwa ku poliisi e Mityana.

 

Kigambibwa nti akirizza okwenyigira mu muze guno nti ng'okuva June okutuusa kati, abadde yaakabba ezisukka mu 9.

 

Omwogezi wa poliisi mu Wamala, Lameck Kigozi, agambye nti ono, babadde baakamusiba emirundi ebiri ku misango gye gimu era ng'okubuuliriza kugenda mu maaso.

Tags:
Amawulire
Nnamba puleeti
Kukwata
Poliisi