BANNAMAWULIRE ba Bukedde ne New Vision okuli Gerald Kikulwe ne Hannington Jjuuko ‘Maswanku’ bagudde mu bibinja by’ababbi abatambula n’amajambiya ne babakuba bubi n’okubanyagulula.
Yabadde akedde kugenda ku mirimu gy’amawulire ku kisaawe kya ddigi e Garuga mu mpaka za Mountain Dew National Motocross championship.
Ppiki eyabaddeko abavubuka 3 yamusibiddeko, omu n’amugwa mu malaka n’agezaako okumutuga, omulala n’asikayo ejjambiya mu kugulu kw’empale amuteme ku mutwe ate omulala n’amusamba mu kifuba n’agwa n’azirika.
Yazzeemu okutegeera ng’abasawo e Mulago bamujjanjaba ebiwundu ku mikono, amagulu ne mu kifuba. Oluvannyuma yagguddewo omusango ku poliisi y’e Kanyanya ku fayiro nnamba 13/25/10/2026.
Maswanku bamutaayizza ku geeti ng’ayingira mu maka ge e Mutundwe Kirinyabigo ku ssaawa 10: 00 ez’oku makya ekyakeesezza ku Lwokubiri.
Baamukubye ne bamubba buli kintu n’okumufumita ssaako okumusala ebiso ne bamuleka ng’azirise kyokka oluvannyuma kaadi y’omulimu baagikomezzaawo ne bagimusuulira mu kikomera.
Omusuubuzi Shamai Ssentongo naye yabadde ava ku Voice of Africa leediyo e Kololo wiiki ewedde ekibinja ky’ababbi abalina amajambiya baamutaayizza ng’ayingira awaka e Namasuba ku ssaawa 7:00 ez’ekiro ne bamukuba bubi n’okumunyagulula.
Omwogezi wa poliisi mu Kampala n’emiriraano, Rachael Kawala yagambye nti baatandise okuyigga abatemu abo bavunaanibwe.