POLIISI ekoze ekikwekweto mw’ekwatidde abantu 5 ku bigambibwa nti babbye pikipiki ne bazitwala mu kitundu kya Wansanso e Kibuye baziguze abazitema sipeeya.
Omwogezi wa poliisi mu Kampala n’emiriraano, Rachael Kawala yagambye nti ekikwekweto kino kyakoleddwa ku Ssande nga October 25, 2026 ng'abaserikale baasoose kukwata Emmanuel Kyeyune eyasangiddwa ku luguudo
Yagambye nti okuva ku ssaawa 12:00 ez’oku makya okutuusa ssaawa 10:00 ez’olweggulo, abaserikale baagumbye mu Wansanso ne bakwata abantu abalala nga kuno kwabaddeko Godfrey Kusiima ne Eriab Kubibana ababbye pikipiki nnamba UMA 057HX okuva ku kyalo Nsaana e Kakumiro nga baabadde bagireese kugitunda.
Yategeezezza nti ekikwekweto kyakutte Pius Galaba ng’ono kigambibwa yabbye pikipiki okuva e Jinja nnamba UFK 479Z n’agireeta e Kampala nga bwe yakwatiddwa yasoose kugamba abaserikale nti ya mukama we kwe kumukubira n’ategeeza nti pikipiki yabbibwa wiiki emu emabega.