Amawulire

Maama abadde atulugunya abaana be yeezaalira ng'abalumiriza obutamuwa kitiibwa poliisi emukutte

Poliisi e Wakiso ekutte maama ow'emyaka 38 ku bigambibwa nti abadde atulugunya abaana be okuli ow'emyaka 7 ne 8.

Maama abadde atulugunya abaana be yeezaalira ng'abalumiriza obutamuwa kitiibwa poliisi emukutte
By: Godfrey Kigobero, Journalist @New Vision

Poliisi e Wakiso ekutte maama ow'emyaka 38 ku bigambibwa nti abadde atulugunya abaana be okuli ow'emyaka 7 ne 8.

 

Sophia Nassanga 38, omutuuze w'e Kireka Bbira mu muluka gwa Nakabugo e Wakiso, y'akwatiddwa ku bigambibwa nti abadde atulugunya abaana be babiri be yeezaalira.

 

Kigambibwa nti yakubye abaana nga kw’agasse okuvumbika akambe  mu ssigiri n'akabayisa ku mibiri gyabwe nga kookya n'abatuusaako ebisago.

 

Omwogezi wa poliisi mu Kampala, Racheal Kawala, agambye nti abadde abalanga kumubbako 5,000/- nti n'obutamuwa kitiibwa. Okubuuliriza, kugenda mu maaso.

Tags:
Amawulire
Maama
Baana
Kuzaala
Kitiibwa
Kutulugunya