KKOOTI ejulirwamu egobye okusaba kw’eyavuganya ku ky’omubaka wa Makindye East Judith Nuwabeine kwe yassaamu ng’ayagala kkooti emukkirize ejulire ensala y’omulamuzi Andrew Khaukha bwe yagoba okusaba kwe yali ataddemu nti wabeewo okunoonyereza ku buyigirize bwa Mulyanyama.

Judith ng'annyonnyola bannamawulire
Nuwabeine yaddukira mu kkooti ejulirwamu ng’ayagala bamukkirize eky’ebiwandiiko by’omubaka wa Makindye West Ali Kasirye Mulyanyama Omulamuzi Khaukha bweyagoba ensonga ezi nagamba ebyo byonna biwulirwa kakiiko ka byakulonda ng’okulonda tekunabaaawo ,bwatyo najulira ngagamba Khaukha yagoba obujulizi bwe.
Akakiiko k’ebyokulonda kaalangirira Mulyanyama ku ky’omubaka kyokka Nuwebeine teyamatira n’ebyava mu kalulu era n’awawaabira Mulyanyama n’akakiiko ng’agamba yalangirirwa mu bukyamu ate teyalina biwandiiko bya buyigirize bimukkiriza kwesimbawo.
Omusango gw’okuwangulwa gukyali wa mulamuzi Andrew Khaukha okusalawo oba Mulyanyama yalangirirwa mu butuufu.