ABASAJJA babiri abagambibwa okubbisa eryanyi basindikiddwa Luzira ku alimanda
Bano tebakkiriziddwa kubaako kye boogera kubanga omusango guno gulina kuwulirizibwa kkooti nkulu yokka era ne gwongezebwayo okutuuka nga November 4, 2026 lwe banaakomezebwawo mu kkooti.
Okusinziira ku ludda oluwaabi olwakulembeddwa Mercy Yamangusho Khaidara kigambibwa nti Ronald Isabirye 40, omuvuzi wa bbooda omutuuze e Kawempe ne Joel Kulaba 19, omutuuze mu zzooni ya Kibumbiro mu diviizoni y'e Lubaga n'abalala abakyanoonyezebwa babbisa eryanyi
Kigambibwa nga October 20, 2026 mu zzooni ya Kitara e Kawempe babba obukadde 5 okuva ku Lamura Najjuko oluvannyuma ne bamufumita ekiso.